Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
32 verses
1Ekigambo kya Mukama kyanjijira nate nga kyogera nti
2Mubadde mutya n'okugera ne mugerera olugero luno ensi ya Isiraeri nga mwogera nti Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula n'amannyo g'abaana ganyenyeera?
3Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, temuliba na nsonga nate okugera olugero olwo mu Isiraeri.
4Laba, emmeeme zonna zange; ng'emmeeme ya kitaawe, n'emmeeme y'omwana bw'etyo yange: emmeeme ekola ekibi ye erifa.
5Naye omuntu bw'aba omutuukirivu n'akola ebyalagirwa eby'ensonga,
6so nga taliiridde ku nsozi, so nga tayimusizza maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, so nga tayonoonye mukazi wa munne, so nga tasemberedde mukazi mu biro eby'okweyawula kwe;
7so nga talyazaamaanyizza muntu yenna, naye eyaddizanga omwewoze omusingo gwe, so nga tanyaze muntu yenna lwa maanyi, era eyawanga omuyala emmere ye n'abikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo;
8atawolanga lwa magoba, so nga takkirizanga ebisukkirira byonna, eyaggyako omukono gwe ku butali butuukirivu, eyatuukirizanga omusango ogw'amazima eri omuntu ne munne,
9eyatambuliranga mu mateeka gange, era eyakwatanga emisango gyange, okukolanga eby'amazima: oyo ye mutuukirivu talirema kuba mulamu, bw'ayogera Mukama Katonda.
10Bw'alizaala omwana, omunyazi, ayiwa omusaayi, era akola ku ebyo byonna,
11so atakola ku ebyo byonna ebimugwanidde, naye okulya eyaliira ku nsozi, n'ayonoona mukazi wa munne,
12eyalyazaamaanya omwavu n'eyeetaaga, eyanyaga olw'amaanyi, so atazza musingo, era eyayimusa amaaso ge eri ebifaananyi, eyakola eby'emizizo,
13eyawolanga olw'amagoba, era eyakkiriza ebisukkirira: kale aliba mulamu ono? taliba mulamu: akoze eby'emizizo bino byonna: talirema kufa; omusaayi gwe guliba ku ye.
14Laba, bw'alizaala omwana, alaba ebibi byonna ebya kitaawe bye yakola, n'atya n'atakola ebifaanana bwe bityo,
15ataliiranga ku nsozi, so atayimusanga maaso ge eri ebifaananyi eby'ennyumba ya Isiraeri, atayonoonanga mukazi wa munne,
16so atalyazaamaanyanga muntu yenna, atasingirwanga kintu, so atanyaganga lwa maanyi, naye eyawanga omuyala emmere ye, eyabikkanga oyo ali obwereere n'ekyambalo,
17eyaggyako omukono gwe eri omwavu, atakkirizanga magoba newakubadde ebisukkirira, eyatuukirizanga emisango gyange, eyatambuliranga mu mateeka gange; oyo talifa lwa butali butuukirivu bwa kitaawe, talirema kuba mulamu.
18Kitaawe, kubanga yajooga n'obukambwe, n'anyaga muganda we olw'amaanyi, n'akola ebyo ebitali birungi mu bantu be, laba, alifiira mu butali butuukirivu bwe.
19Era naye mwogera nti Omwana kiki ekimulobera okubaako obutali butuukirivu bwa kitaawe? Omwana bw'aba nga akoze ebyalagirwa eby'ensonga, era ng'akutte amateeka gange gonna, era ng'agakoze, talirema kuba mulamu.
20Emmeeme eyonoona ye erifa: omwana talibaako butali butuukirivu bwa kitaawe, so ne kitaawe talibaako butali butuukirivu bwa mwana we; obutuukirivu obw'omutuukirivu buliba ku ye, n'obubi obw'omubi buliba ku ye.
21Naye omubi bw'akyukanga okuleka ebibi bye byonna bye yakola n'akwata amateeka gange gonna, n'akola ebyalagirwa eby'ensonga, talirema kuba mulamu, talifa.
22Tewaliba ku byonoono bye bye yayonoona ebirijjukirwa ku ye: alibeera omulamu mu butuukirivu bwe bwe yakola.
23Nnina essanyu lye nsanyukira okufa kw'omubi? bw'ayogera Mukama Katonda: naye saagala bwagazi akomewo okuva mu kkubo lye abeere omulamu?
24Naye omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu n'akola ng'emizizo gyonna bwe giri omuntu omubi gy'akola, aliba mulamu? Tewaliba ku bikolwa bye eby'obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa: mu kyonoono kye ky'ayonoonye ne mu kibi kye ky'akoze, mu ebyo mw'alifiira.
25Era naye mwogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Muwulire nno, ai ennyumba ya Isiraeri: ekkubo lyange si lye lyenkanankana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana?
26Omuntu omutuukirivu bw'akyukanga okuleka obutuukirivu bwe n'akola ebitali bya butuukirivu n'afiira omwo; mu butali butuukirivu bwe bw'akoze mw'alifiira.
27Nate omuntu omubi bw'akyukanga okuleka obubi bwe bw'akoze n'akola ebyo ebyalagirwa eby'ensonga, aliwonya emmeeme ye okufa.
28Kubanga alowooza n'akyuka okuleka ebyonoono bye byonna by'akoze, talirema kuba mulamu, talifa.
29Era naye ennyumba ya Isiraeri boogera nti Ekkubo lya Mukama teryenkanankana. Ai ennyumba ya Isiraeri, amakubo gange si ge genkanankana? amakubo gammwe si ge gatenkanankana?
30Kyendiva mbasalira omusango, ai ennyumba ya Isiraeri, buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, bw'ayogera Mukama Katonda. Mukomeewo, mukyuke okuleka ebyonoono byammwe byonna; kale obutali butuukirivu buleme okubazikiriza.
31Musuule wala nammwe ebyonoono byammwe byonna bye mwonoonye; mwekolere omutima omuggya n'omwoyo omuggya: kubanga kiki ekibaagaza okufa, ai ennyumba ya Isiraeri?
32Kubanga sirina ssanyu lyakusanyukira lwa kufa kw'oyo afa, bw'ayogera Mukama Katonda: kale mwekyuse muleme okufa