Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, yimirira ku bigere bye nange naayogera naawe.
2Kale omwoyo ne guyingira mu nze bwe yayogera nange, ne gunnyimiriza ku bigere byange; ne mpulira oyo eyayogera nange.
3N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, nkutuma eri abaana ba Isiraeri eri amawanga amajeemu, abanjeemedde: bo ne bajjajjaabwe bansobyanga okutuukira ddala ku lunaku olwa leero.
4N'abaana ba kyejo, era ba mitima mikakanyavu; nkutuma eri abo: era olibagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda.
5Nabo, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo, (kubanga nnyumba njeemu era naye balimanya nga mu bo mubaddemu nnabbi.
6Naawe omwana w'omuntu, tobatyanga, so totyanga bigambo byabwe, newakubadde emyeramannyo n'amaggwa nga biri naawe, era ng'obeera mu njaba ez'obusagwa: totyanga bigambo byabwe, so tokeŋŋentererwanga olw'amaaso gaabwe, newakubadde nga nnyumba njeemu.
7Era olibagamba ebigambo byange oba nga banaawulira) oba nga banaalekayo: kubanga bajeemu nnyo nnyini.
8Naye ggwe, omwana w'omuntu, wulira kye nkugamba tobanga ggwe mujeemu ng'ennyumba eyo enjeemu: yasama akamwa ko olye ekyo kye nkuwa:
9Awo bwe nnatunula, laba, omukono ne gugololwa eri nze; era, laba, omuzingo gw'ekitabo nga guli omwo;
10n'agwanjululiza mu maaso gange; era gwawandiikibwa munda ne kungulu: era mwawandiikibwamu okuwuubaala n'okukungubaga n'obuyinike.