Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Naawe, omwana w'omuntu, ddira ekitala eky'obwogi, okyeddirire ng'akamwano ak'omumwi, okiyise ku mutwe gwo ne ku kirevu kyo: kale otwale eminzaani okupima, oyawule mu nviiri.
2Ekitundu eky'okusatu okyokeranga mu muliro wakati mu kibuga, ennaku ez'okuzingiza nga zituukiridde; n'ekitundu eky'okusatu okiddiranga, n'otema n'ekitala okukyetooloola; n'ekitundu eky'okusatu okisaasaanyizanga eri empewo, nange ndisowola ekitala ekiribagoberera.
3Era otwalangako omuwendo gwazo si nnyingi n'ozisiba mu kirenge kyo.
4Era ne ku ezo otwalangako, ozisuule mu muliro wakati, ozookere mu muliro; mu zo omuliro mwe guliva ogulibuna ennyumba yonna eya Isiraeri.
5Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Kino ye Yerusaalemi: nkitadde wakati mu mawanga, n'ensi zikyetoolodde.
6Era kyajeemera emisango gyange nga kikola obubi okusinga amawanga, era kijeemedde amateeka gange okusinga ensi ezikyetoolodde: kubanga bagaanyi emisango gyange, n'amateeka gange tebagatambuliddemu.
7Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Kubanga muli ba mawaggali okukira amawanga agabeetoolodde, so temutambulidde mu mateeka gange, so temukutte misango gyange, so temukoze ng'ebiragiro bwe biri eby'amawanga agabeetoolodde;
8Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Laba, nze, nze mwene, ndi mulabe wo; era ndituukiriza emisango wakati mu ggwe amawanga nga galaba.
9Era ndikolera mu ggwe ekyo kye ssikolanga, era kye ssigenda kukola nate ekiri bwe kityo, olw'emizizo gyo gyonna.
10Bakitaabwe kyebaliva baliira abaana wakati mu ggwe, n'abaana balirya bakitaabwe: era ndituukiririza emisango mu ggwe, n'ekitundu kyo kyonna ekifisseewo ndikisaasaanyiza eri empewo zonna.
11Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama Katonda, kubanga wayonoona awatukuvu wange n'ebibyo byonna eby'ebivve n'ebibyo byonna eby'emizizo, nange kyendiva nkukendeeza; so n'amaaso gange tegalisonyiwa so nange sirikwatibwa kisa.
12Ekitundu kyo eky'okusatu kirifa kawumpuli, era balimalibwawo n'enjala wakati mu ggwe; n'ekitundu eky'okusatu kirigwa n'ekitala okukwetooloola; n'ekitundu eky'okusatu ndikisaasaanyiza eri empewo zonna, n'ensowola ekitala ekiribagoberera.
13Obusungu bwange bwe bulituukirira bwe butyo, era ndikkusa ekiruyi kyange ku bo, kale ndisanyusibwa: kale balimanya nga nze Mukama njogedde olw'obunyiikivu bwange, bwe ndimala okutuukiririza ku bo ekiruyi kyange.
14Era nate ndikufuula amatongo n'ekivume mu mawanga gonna agakwetoolodde, abo bonna abayitawo nga balaba.
15Awo kiriba kivume n'ekikiino ekiyigirwako era ekisamaalirirwa eri amawanga agakwetoolodde, bwe ndituukiririza emisango mu ggwe nga ndiko obusungu n'ekiruyi, era nga nnenya n'ekiruyi: nze Mukama nkyogedde
16bwe ndibaweerezaako obusaale obubi obw'enjala obw'okuzikiriza bwe ndiweereza okubazikiriza: era ndyongera ku mmwe enjala, era ndimenya omuggo gwammwe ogw'omugaati;
17era ndibaweerezaako enjala n'ensolo embi, era zirikufiiriza; era kawumpuli n'omusaayi biriyita mu ggwe; era ndikuleetako ekitala: nze Mukama nkyogedde.