Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1Pawulo omutume (ataava mu bantu newakubadde okuyita eri omuntu, wabula eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu),
2n'ab'oluganda bonna abali nange tubawandiikidde ekkanisa ez'e Ggalatiya:
3ekisa kibenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo,
4eyeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atuggye mu mirembe gino egiriwo emibi nga bwe yayagala Katonda era Kitaffe:
5aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
6Nneewuunya kubanga musenguka mangu bwe muti eyabayita mu kisa kya Kristo okugenda eri enjiri efaanana obulala;
7si ndala, wabula abantu ababateganya, abaagala okukyusiza ddala enjiri ya Kristo.
8Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri wabula nga bwe twababuulira, akolimirwenga.
9Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo bwe njogera kaakano nate nti Omuntu bw'ababuuliranga enjiri wabula nga bwe mwaweebwa, akolimirwenga.
10Kubanga kaakano mpembera bantu nantiki Katonda? Nantiki nsala amagezi okusiimibwa abantu? Singa nnali nga nkyasiimibwa abantu, ssandibadde muddu wa Kristo.
11Kubanga mbategeeza, ab'oluganda, nti enjiri eyabuulirwa nze si ya buntu:
12kubanga nange ssaagiweebwa muntu so siyigirizibwanga, wabula mu kubikkulirwa kwa Yesu Kristo.
13Kubanga mwawulira bwe nnabanga edda mu mpisa z'Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda awatali kigera ne nginyaga,
14ne mpitirizanga mu mpisa z'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n'obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange.
15Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye,
16okubikkulira Omwana we mu nze, ndyoke mmubuulirenga mu b'amawanga; amangu ago ssaateesa na mubiri wadde na musaayi:
17so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume: naye nagenda mu Buwalabu, ne nkomawo nate mu Ddamasiko.
18Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne nnyambuka e Yerusaalemi okulaba Keefa, ne mmalayo gy'ali ennaku kkumi na ttaano.
19Naye ssaalaba mulala ku batume wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe.
20Kale, bye mpandiika, laba, mu maaso ga Katonda ssirimba.
21Awo ne ŋŋenda mu njuyi ez'e Busuuli ne Kirukiya.
22Ne mba nga sinnaba kutegeerebwa mu maaso g'ekkanisa ez'e Buyudaaya eziri mu Kristo:
23naye ne bawuliranga buwulizi nti Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yanyaganga edda.
24ne bagulumiza Katonda ku lwange.