Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
29 verses
1Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi, ani eyabaloga, so nga Yesu Kristo yakomererwa nga mulaba?
2Kino kyokka kye njagala mmwe okuntegeeza nti Mwaweebwa Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?
3Bwe mutyo bwe mutalina magezi? Abaasookera mu Mwoyo, kaakati mutuukiririzibwa mu mubiri?
4Mwabonyaabonyezebwa ebyenkana awo bya bwereere? so nga ddala si bwereere.
5Abawa Omwoyo, akola eby'amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa ku kkiriza?
6Nga Ibulayimu bwe yakkiriza Katonda, ne kumubalirwa okubeera obutuukirivu.
7Kale mutegeere ng'abayima mu kukkiriza be baana ba Ibulayimu.
8N'ekyawandiikibwa bwe kyalaba edda Katonda bw'aliwa amawanga obutuukirivu olw’okukkiriza, ne kibuulira olubereberye Ibulayimu enjiri nti Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa.
9Bwe kityo abayima mu kukkiriza baweerwa omukisa awamu ne Ibulayimu eyalina okukkiriza.
10Kubanga bonna abayima mu bikolwa by'amateeka, bafugibwa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli ataabinyiikirira byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka, okubikolanga.
11Era kimanyiddwa nga mu mateeka tewali aweebwa butuukirivu eri Katonda: kubanga nti Abatuukirivu baanabeeranga balamu lwa kukkiriza;
12naye amateeka tegayima mu kukkiriza; naye nti Omuntu agakola anaabeeranga mulamu mu go.
13Kristo yatununula mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti:
14omukisa gwa Ibulayimu gulyoke gutuuke eri amawanga mu Kristo Yesu; tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky'Omwoyo olw'okukkiriza.
15Ab'oluganda, njogera mu buntu: endagaano newakubadde nga ya muntu buntu bw'emala okunywera tewali agiggyawo newakubadde agyongerako.
16Ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omuzzukulu we. Tayogera nti N'eri abazzukulu, nga bangi, naye ng'omu nti N'eri omuzzukulu wo, ye Kristo.
17Kino kye njogera nti Endagaano eyasooka okunywezebwa Katonda, amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu tegagiggyaawo n'okudibya ekyasuubizibwa.
18Kuba oba ng'obusika buva mu mateeka, nga tebuva nate mu kusuubiza: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza,
19Kale amateeka kiki? Gassibwawo lwa kwonoona okutuusa w'alijjira omuzzukulu eyasuubizibwa, gaalagirwa bamalayika mu mikono gy'omutabaganya.
20Naye omutabaganya si w'omu; naye Katonda ye omu.
21Kale amateeka tegatabagana n'ebyasuubizibwa Katonda? Kitalo: kuba singa amateeka gaaweebwa nga ge gayinza okuleeta obulamu, ddala obutuukirivu bwandibadde mu mateeka.
22Naye ebyawandiikibwa byabisiba byonna mu bufuge bw'ekibi, abakkiriza balyoke baweebwe ekyasuubizibwa ekiva mu kukkiriza Yesu Kristo.
23Naye okukkiriza nga tekunnaba kujja, twakuumirwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okukkiriza okugenda okubikkulwa.
24Bwe kityo amateeka yali mutwazi waffe eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza.
25Naye okukkiriza bwe kumaze okujja, tetukyali mu bufuge bwa mutwazi.
26Kubanga mmwe mwenna muli baana ba Katonda olw'okukkiriza, mu Kristo Yesu.
27Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo.
28Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
29Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali.