Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Mu ddembe Kristo yatufuula ba ddembe: kale munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu.
2Laba, nze Pawulo mbagamba nti bwe munaakomolebwanga, Kristo talibaako ky'alibagasa.
3Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byonna.
4Mwawuliddwa eri Kristo, mmwe abaagala okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugudde okuva mu kisa.
5Kubanga ffe ku bw'Omwoyo olw'okukkiriza tulindirira essuubi ery'obutuukirivu.
6Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa tekulina maanyi newakubadde obutakomolebwa, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala.
7Mwali mutambula bulungi; ani eyabaziyiza okugonderanga amazima?
8Okuwemba okwo tekwava eri oyo abayita.
9Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.
10Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani.
11Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo.
12Nnandyagadde bali abababuguutanya n'okweyawula beeyawule.
13Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye eddembe lyammwe liremenga okubeera omubiri kwe guyima, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka.
14Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.
15Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulemenga okwemalawo mwekka na mwekka.
16Naye njogera nti Mutambulirenga mu Mwoyo, kale temuutuukirizenga kwegomba kwa mubiri.
17Kubanga omubiri gwegomba nga guwakana n'Omwoyo, n'Omwoyo nga guwakana n'omubiri; kubanga ebyo byolekanye, mulemenga okukola ebyo bye mwagala.
18Naye bwemuluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka.
19Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, empitambi, obukaba,
20okusinza ebifaananyi, okuloga; obulabe, okuyomba; obuggya; obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu,
21ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: nsooka okubabuulira ku ebyo, nga bye nnasooka okubabuulira, nti bali abakola ebiri ng'ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.
22Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza,
23obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka.
24N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'okukwatibwa n'okwegomba kwagwo.
25Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo.
26Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tukwatibwa obuggya fekka na fekka.