Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
34 verses
1Awo Ibulayimu n'awasa omukazi amulala, erinnya lye Ketula.
2Naye n'amuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki, ne Suwa.
3Yokusaani n'azaala Seeba, ne Dedani. N'abaana ba Dedani abasajja baali Asulimu, ne Letusimu, ne Leumimu.
4N'abaana ba Midiyaani abasajja; Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida, ne Erudaa. Abo bonna baana ba Ketula.
5Ibulayimu n'awa Isaaka byonna bye yalina.
6Naye abaana abasajja ab'abazaana, Ibulayimu be yalina, Ibulayimu n'abawa bo ebirabo; n'abasindika okuva eri Isaaka omwana we, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende ebuvanjuba, mu nsi ey'ebuvanjuba.
7N'ennaku ez'emyaka ez'obulamu bwa IbuIayimu bwe yamala ze zino, emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano.
8Ibulayimu n’ata omukka n'afa ng'amaze okuwangaala obulungi, nga mukadde emyaka gye nga gituukiridde: n'atwalibwa eri abantu be.
9Isaaka ne Isimaeri batabani be ne bamuziika mu mpuku ya Makupeera, mu Iusuku lwa Efulooni omwana wa Zokali Omukiiti, olutunuulira Mamule;
10olusuku abaana ba Keesi lwe baaguza Ibulayimu: Ibulayimu mwe baamuziika omwo ne Saala mukazi we.
11Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga ku Beerirakairoi.
12Era okuzaala kwa Isimaeri, omwana wa Ibulayimu Agali Omamisiri, omuzaana wa Saala, gwe yazaalira Ibulayimu, kwe kuno:
13n'abaana ba Isimaeri, amannya gaabwe nga bwe gaali, nga bwe baazaalibwa, amannya gaabwe ge gano: omubereberye wa Isimaeri, Nebayoosi; ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu,
14ne Misuma, ne Duma, ne Masa;
15Kadadi ne Teema, Yettuli, Nafisi, ne Kedema:
16abo be baana ba Isimaeri, era ago ge mannya gaabwe, ng'ebyalo byabwe bwe byali, era nga bwe baakuba eweema zaabwe; abalangira kkumi na babiri ng'amawanga gaabwe bwe gaali.
17N'emyaka gya Isimaeri gye yamala, emyaka kikumi mu asatu mu musanvu: n'ata omukka n'afa; n'atwalibwa eri abantu be.
18Ne batuula okuva ku Kavira okutuuka ku Ssuuli ekitunuulira Misiri, ng'ogenda e Bwasuli: yatuulanga mu maaso ga baganda be bonna.
19N'okuzaala kwa Isaaka, omwana wa Ibulayimu, kwe kuno: Ibulayimu yazaala Isaaka:
20era Isaaka yali yaakamaze emyaka ana bwe, yawasa Lebbeeka, omwana wa, Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu, mwannyina Labbaani Omusuuli, okuba mukazi we.
21Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto.
22Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti Bwe kiri bwe kityo, kyenva mbeera, omulamu kiki? N'agenda okubuuza Mukama.
23Mukama n'amugamba nti Amawanga abiri gali mu lubuto lwo. N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto.
24Awo ennaku ze bwe zaatuukirira okuzaala, laba ne baba abalongo mu lubuto lwe.
25N'omubereberye n'avaamu nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ekyambalo eky'ebyoya: ne bamutuuma erinnya lye Esawu.
26Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo: era Isaaka yali yaakamaze emyaka nkaaga, mukazi we bwe yabazaala.
27Abalenzi ne bakula: Esawu n'abanga omuyizzi ow'amagezi, omusajja ow'omu nsiko; ne Yakobo yali musajja muteefu, eyatuulanga mu weema.
28Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe: ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo.
29Yakobo n'afumba omugoyo: Esawu n'ayingira ng'avudde mu nsiko, ng'akooye nga talina maanyi:
30Esawu n'agamba Yakobo nti Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi: erinnya lye kye lyava liyitibwa Edomu.
31Yakobo n'ayogera nti Nguza leero eby'obukulu bwo.
32Esawu n'ayogera nti Laba, mbulako katono okufa: n'eby'obukulu biringasa bitya?
33Yakobo n'amugamba nti Ndayirira leero; n'amulayirira: n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe.
34Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, ne yeegendera: bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe.