Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?
2Omukazi n'agamba omusota nti Ebibala by'emiti egy'omu lusuku tulya;
3Wabula ebibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Temugulyangako newakubadde okugukwatangako muleme okufa.
4Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa.
5Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n'obubi.
6Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusanyusa amaaso n'omuti nga gwa kwegombebwa, okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne ku musajja we naye n'alya.
7Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne beetegeera nga baali bwereere; ne batunga amalagala g'emiti ne beekolera eby'okwambala.
8Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'empewo: omusajja ne mukazi we ne beekweka mu maaso ga Mukama Katonda wakati mu miti egy'omu lusuku.
9Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba: nti Oli luuyi wa?
10N'ayogera nti, Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, n'entya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka.
11N'ayogera nti Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku muti gwe nnakulagira obutagulyangako?
12Omusajja n'ayogera nti Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange ye ampadde ku muti, ne ndya.
13Mukama Katonda n'agamba omukazi nti Kiki kino ky'okoze? Omukazi n'ayogera nti Omusota gunsenzesenze, ne ndya.
14Mukama Katonda n'agamba omusota nti, Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo ez'omu nnyumba zonna, n'okusinga buli nsolo ey'omu nsiko; onootambuzanga olubuto, onoolyanga enfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo:
15nange obulabe nnaabuteekanga wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi: (ezzadde ly'omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.
16N'agamba omukazi nti Okwongera nnaakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga.
17N'agamba Adamu nti Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga ebyokulya ennaku zonna ez'obulamu bwo;
18amaggwa n'amatovu g'eneekuzaaliranga; naawe onoolyanga omuddo ogw'omu nnimiro.
19Mu ntuuyo ez'omu maaso go mw'onooliiranga emmere,-okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda.
20Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu.
21Mukama Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza.
22Mukama Katonda n'ayogera nti Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe;
23Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Adeni, alimenga ettaka mwe yaggibwa.
24Bw'atyo n'agoba omuntu; n'azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n'ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery'omuti ogw'obulamu.