Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Yusufu n'agwa ku maaso ga kitaawe, n'amukaabirako, n'amunywegera:
2Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe: abasawo ne bakalirira Isiraeri.
3Ne bamala ennaku ana nga bamukalirira; kubanga bwe zityo ennaku ez'okukaliriramu bwe zenkana okuzimala: Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu nga bakumye olumbe ku bubwe.
4Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, mwogerere mu matu ga Falaawo nti
5Kitange yandayiza ng'ayogera nti Laba, nfa: mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanani mw'olinziika. Kale kaakano nkwegayiridde, nnyambuke, nziike kitange, era ndikomawo.
6Falaawo n'ayogera nti Yambuka oziike kitaawo nga bwe yakulayiza.
7Yusufu n'ayambuka okuziika kitaawe: ne wagenda naye abaddu bonna aba Falaawo, abakadde ab'ennyumba ye n'abakadde bonna ab'ensi y'e Misiri,
8n'ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be n'ennyumba ya kitaawe: abaana baabwe abato, n'endiga zaabwe n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu nsi y'e Goseni.
9Ne wayambuka naye amagaali era n'abeebagadde ku mbalaasi: ne kiba ekibiina ekinene ennyo.
10Ne batuuka ku gguliro lya Atadi, eriri emitala wa Yoludaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi binene nnyo: n'amala ennaku musanvu, ng'akaabira kitaawe.
11N'abo abaatuulanga mu nsi, Abakanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguliro lya Atadi, ne boogera nti Okukaaba kuno kungi eri Abamisiri: kyeryava lituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani.
12Abaana be ne bamukolera nga bwe yabalagira:
13bwe kityo abaana be ne bamusitula ne bamutwala mu nsi ya Kanani, ne bamuziika mu mpuku ey'omu nnimiro ya Makupeera, Ibulayimu gye yagula awamu n'ennimiro, okuba obutaka okuziikangamu, eri Efulooni Omukiiti, eri mu maaso ga Mamule.
14Yusufu n'addayo mu Misiri ye ne baganda be ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe, bwe yamala okuziika kitaawe.
15Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe yafa, ne boogera nti Mpozzi Yusufu agenda okutukyawa, n'okutuwalanirako ddala obubi bwonna bwe twamukola.
16Ne batumira Yusufu nga boogera nti Kitaawo yalagira bwe yali nga tannafa ng'ayogera nti
17Bwe mutyo bwe muligamba Yusufu nti Nkwegayiridde kaakano, sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi: ne kaakano, tukwegayiridde, sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo. Yusufu n'akaaba amaziga bwe baayogera naye.
18Ne baganda be n'okugenda ne bagenda ne bavuunama mu maaso ge; ne boogera nti Laba, tuli baddu bo.
19Yusufu n'abagamba nti Temutya: nze ndi mu kifo kya Katonda?
20Nammwe, mwali mwagala okundeetako ebibi; naye Katonda yali ayagala okundeetako ebirungi, nga era bwe kibadde, okuwonya abantu abangi baleme okufa.
21Kale kaakano temutya: nnaabaliisanga mmwe n'abaana bammwe abato. Naabasanyusa, nnaabagamba eby'ekisa.
22Yusufu n'atuulanga mu Misiri ye n'ennyumba ya kitaawe: Yusufu n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi.
23Yusufu n’alaba abaana ba Efulayimu bannakabirye: era n'abaana ba Makiri omwana wa Manase baazaalirwa ku maviivi ga Yusufu.
24Yusufu n'agamba baganda be nti Nfa: naye Katonda telirema kubajjira n'okubaggya mu nsi eno okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
25Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira, nammwe mulitwala amagumba gange nga mugaggya muno.
26Bw'atyo Yusufu n'afa, nga yaakamaze emyaka kikumi mu kkumi: ne bamukalirira; ne bamuteeka mu ssanduuko ey'okuziikamu mu Misiri.