Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
5 verses
1Awo Mukama n'aŋŋamba nti Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe, era omwenzi, era nga Mukama bw'ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala ebitole by'ezabbibu enkalu.
2Awo ne mmwegulira ne mmuwasa n'ebitundu ebya ffeeza kkumi n'ebitaano ne komeri eya sayiri ko ekitundu eky'ekomeri eya sayiri:
3ne mmugamba nti Olibeerera awo ku lwange ennaku nnyingi; tolyefuula mwenzi, so toliba muka musajja yenna: nange bwe ndiba bwe ntyo gy'oli.
4Kubanga abaana ba Isiraeri balibeerera awo ennaku nnyingi nga tebalina kabaka so nga tebalina mulangira so nga tebalina ssaddaaka so nga tebalina mpagi so nga tebalina kizibawo kya kabona newakubadde baterafi:
5oluvannyuma abaana ba Isiraeri balikomawo ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe; era balijja eri Mukama nga batya n'eri obulungi bwe mu nnaku ez'oluvannyuma.