Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
6 verses
1Era ku lunaku luli olyogera nti Naakwebaza, ai Mukama; kubanga newakubadde nga wansunguwalira, obusungu bwo bukyuse, era onsanyusa.
2Laba, Katonda bwe bulokozi bwange; nneesiganga ne ssitya: kubanga Mukama Yakuwa ge maanyi gange n'oluyimba; era ye afuuse obulokozi bwange.
3Kyemunaavanga musenanga n'essanyu amazzi mu nzizi ez'obulokozi.
4Era ku lunaku luli mulyogera nti Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye, mubuulire ebikolwa bye mu mawanga, mwogere erinnya lye ligulumizibwe.
5Mumuyimbire Mukama; kubanga akoze eby'ekitiibwa: ekyo kimanyibwe mu nsi yonna.
6Yogerera waggulu oleekaane, ggwe atuula mu Sayuuni: kubanga Omutukuvu owa Isiraeri ali wakati mu ggwe mukulu.