Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Ku lunaku luli oluyimba luno luliyimbirwa mu nsi ya Yuda: nti Tulina ekibuga eky'amaanyi; obulokozi bw'alissaawo okuba bbugwe n'enkomera.
2Mugguleewo enzigi, eggwanga ettuukirivu erikwata amazima liyingire.
3Onoomukuumanga mirembe mirembe, eyeesigamya omwoyo gwe ku ggwe: kubanga akwesiga ggwe.
4Mwesigenga Mukama ennaku zonna: kubanga mu Mukama Yakuwa mwe muli olwazi alutaliggwaawo.
5Kubanga akkakkanyizza abo abatuula waggulu, ekibuga ekigulumivu: akissa wansi, akissa wansi okutuuka ne ku ttaka; akikkakkanya okutuuka ne mu nfuufu.
6Ekigere kirikirinnyirira; ebigere by'omwavu, n'ebisinde by'oyo atalina kintu.
7Ekkubo ery'omutuukirivu bugolokofu: ggwe omugolokofu oluŋŋamya olugendo olw'omutuukirivu.
8Weewaawo, mu kkubo ery'emisango gyo, ai Mukama, mwe twakulindiriranga; eri erinnya lyo n'eri ekijjukizo kyo ye eri okwoya kw'obulamu bwaffe.
9Nakwoyanga n'obulamu bwange ekiro; weewaawo, nakeeranga mu makya okukunoonya n'omwoyo gwange munda yange: kubanga emisango gyo bwe gibeera mu nsi, abatuula ku ttaka lwe bayiga obutuukirivu.
10Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu: mu nsi ey'obugolokofu mw'anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama.
11Mukama, omukono gwo guyimusibwa, naye tebalaba: naye baliraba obunyiikivu bwo olw'abantu ne bakwatibwa ensonyi; weewaawo, omuliro gulyokya abalabe bo.
12Mukama, oliragira emirembe gye tuli: kubanga n'okukola watukolera emirimu gyaffe gyonna.
13Ai Mukama Katonda waffe, abaami abalala awali ggwe baatufuganga; naye ggwe tunaayatulanga erinnya lyo wekka.
14Bafudde, tebaliba balamu; bazikiridde, tebalizuukira: kyewava obajjira n'obasangulawo n'obuza okujjukirwa kwabwe kwonna.
15Wayaza eggwanga, ai Mukama, wayaza eggwanga; ogulumizibwa: ogaziyizza ensalo zonna ez'ensi.
16Mukama, lwe balabye ennaku lwe bakujjidde, baafuka okusaba okukangavvula kwo bwe kwali ku bo.
17Ng'omukazi ali olubuto, ebiro eby'okuzaala kwe nga binaatera okutuuka, bw'alumwa n'akaaba ng'abalagalwa; bwe tutyo bwe twabanga mu maaso go, ai Mukama.
18Twali lubuto, twalumwa, twazaala mpewo; tetwaleeta kulokola kwonna mu nsi; so n'abatuula mu nsi tebagudde.
19Abafu bo baliba balamu; emirambo gyange girizuukira. Muzuukuke muyimbe, mmwe ababeera mu nfuufu: kubanga omusulo gwo guli ng'omusulo ogw'oku middo, n'ettaka liriwandula abafu.
20Jjangu, eggwanga lyange, oyingire mu bisenge byo, weggalire enzigi zo: weekweke akaseera katono, okutuusa okunyiiga lwe kuliggwaawo.
21Kubanga, laba, Mukama ajja ng'afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw'obutali butuukirivu bwabwe: n'ettaka nalyo liribikkula ku musaayi gwalyo; so teriryeyongera kubikka ku baalyo abattibwa.