Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
9 verses
1Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okubeerwa, era abeesiga embalaasi; era abeesiga amagaali kubanga mangi, n'abeebagala embalaasi kubanga ba maanyi mangi; naye tebatunuulira Mutukuvu wa Isiraeri so tebanoonya Mukama!
2Naye era naye wa magezi, era alireeta obubi, so talikomyawo bigambo bye: naye aligolokokera ku nnyumba y'abo abakola obubi ne ku buyambi bw'abo abakola ebitali bya butuukirivu.
3Kale nno Abamisiri bantu buntu so si Katonda; n'embalaasi zaabwe mubiri bubiri so si mwoyo: era Mukama bw'aligolola omukono gwe, oyo ayamba alyesittala era n'oyo ayambwa aligwa, kale bonna baliggweerawo wamu.
4Kubanga bw'atyo Mukama bw'aŋŋamba nti Ng'empologoma bw'ewulugumira ku muyiggo gwayo n'empologoma ento, abasumba abangi bwe bayitibwa okugirumba, teritiisibwa na ddoboozi lyabwe, so teryetoowaza lwa kuyoogaana kwabwe: bw'atyo Mukama ow'eggye bw'alikka okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku kasozi kaako.
5Ng'ennyonyi ezibuuka, bw'atyo Mukama ow'eggye bw'anaakuumanga Yerusaalemi; anaakikuumanga n'akiwonya, aliyitako n'akirokola.
6Mukyukire oyo gwe mwajeemerera ddala, mmwe abaana ba Isiraeri.
7Kubanga ku lunaku luli balisuulira ddala buli muntu ebifaananyi bye ebya ffeeza, n'ebifaananyi bye ebya zaabu, engalo zammwe mmwe bye zaabakolera okuba ekibi.
8Awo Omwasuli aligwa n'ekitala ekitali kya bantu; n'ekitala ekitali kya bantu kirimulya: era alidduka ekitala, n'abavubuka be balifuuka musolo.
9N'olwazi lwe lulivaawo olw'okwesisiwala, n'abakulu be balikeŋŋentererwa olw'ebendera, bw'ayogera Mukama, omuliro gwe guli ku Sayuuni n'ekikoomi kye mu Yerusaalemi.