Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Musembere, mmwe amawanga, okuwulira; era muwulirize, mmwe abantu: ensi ewulire n'okujjula kwayo; ettaka n'ebintu byonna ebirivaamu.
2Kubanga Mukama alina okunyiiga ku mawanga gonna, n'ekiruyi ku ggye lyabwe lyonna: abazikiririzza ddala, abagabudde okuttibwa.
3Era abaabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, n'ekivundu eky'emirambo gyabwe kiririnnya, n'ensozi zirisaanuuka olw'omusaayi gwabwe.
4N'eggye lyonna ery'omu ggulu liryabulukuka, n'eggulu lirizingibwa ng'omuzingo gw'empapula: n'eggye lyalyo lyonna liriyongobera, ng'akalagala bwe kayongobera ne kava ku muzabbibu, era ng'akalagala akayongobera bwe kava ku mutiini.
5Kubanga ekitala kyange kinywedde okukkuta mu ggulu: laba, kirigwa ku Edomu, ne ku bantu ab'ekikolimo kyange, olw'omusango.
6Ekitala kya Mukama kijjudde omusaayi, kisavuwadde n'amasavu, n'omusaayi gw'abaana b'endiga n'embuzi, n'amasavu ag'ensigo z'endiga ennume: kubanga Mukama alina ssaddaaka e Bozula, n'okutta abangi mu nsi ya Edomu.
7N'embogo ziriserengeta wamu nazo, n'ente wamu ne ziseddume; n'ensi yaabwe eritamiira omusaayi, n'enfuufu yaabwe erisavuwala n'amasavu.
8Kubanga lwe lunaku olw'okuwalana eggwanga lya Mukama, omwaka ogw'okusasula empeera mu mpaka za Sayuuni.
9N'emigga gyayo girifuuka bulimbo, n'enfuufu yaayo kibiriiti, n'ensi erifuuka bulimbo obwaka.
10Terizikizibwa misana newakubadde ekiro; omukka gwayo gunaanyookanga ennaku zonna: emirembe n'emirembe eneebeereranga awo ng'ezise; tewaabenga anaagiyitangamu emirembe n'emirembe.
11Naye kimbala ne namunnungu be banaabanga bannyini yo; n'ekiwugulu ne namuŋŋoona be banaatuulanga omwo: era aligireegako omugwa ogw'okwetabula, n'amayinja agatereeza ag'obutaliimu.
12Baliyita abakungu baayo okujja mu bwakabaka, naye tewaliba alibaayo; n'abalangira baayo bonna baliba si kintu.
13N'amaggwa galimera mu mayumba gaayo, emyennyango n'amatovu mu bigo byayo: era eneebanga nnyumba za bibe, luggya lwa bamaaya.
14N'ensolo enkambwe ez'omu ddungu zirisisinkana n'emisege, n'eya zigeye eriyitiriza ginnaayo; weewaawo, ennyonyi ey'ekiro erigwa eyo, ne yeerabira ekiwummulo.
15Eyo ekkufufu gye lirizimbira ekisu kyalyo, ne libiika, ne limaamira, ne likuŋŋaanya wansi w'ekisiikirize kyalyo: weewaawo, eyo bakamunye gye balikuŋŋaanira, buli omu wamu ne munne.
16Munoonye mu kitabo kya Mukama musome: tekulibula ku ebyo na kimu, tewaliba ekiribulwa kinnaakyo: kubanga akamwa kange ke kalagidde, n'omwoyo gwe gwe gubikuŋŋaanyizza.
17Era abikubidde obululu, n'omukono gwe gubigabidde n'omugwa: binaagiryanga ennaku zonna, emirembe n'emirembe binaatuulanga omwo.