Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
6 verses
1Era abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu ku lunaku luli, nga boogera nti Tunaalyanga emmere yaffe ffe, era tunaayambalanga ebyambalo byaffe ffe: kyokka tutuumibwe erinnya lyo; otuggyeko ekivume kyaffe.
2Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n'ebibala by'ensi biribawoomera nnyo abo abawonye ku Isiraeri, biriba birungi.
3Awo olulituuka, oyo asigadde mu Sayuuni n'oyo abeera mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, ye buli muntu awandiikibwa mu balamu mu Yerusaalemi:
4Mukama bw'aliba ng'anaalizza ddala empitambi y'abawala ba Sayuuni, era ng'amazeemu omusaayi gwa Yerusaalemi wakati mu kyo, olw'omwoyo ogw'omusango, era olw'omwoyo ogw'okwokya.
5Era Mukama alitondera ku buli nnyumba ey'olusozi Sayuuni ekire n'omukka emisana, n'okumasamasa kw'omuliro ogwaka ekiro: kubanga waggulu ku kitiibwa kyonna kulibaako ekiritimbibwako.
6Era walibaawo eweema okuba ekisiikirize emisana eri olubugumu, n'okuba ekiddukiro era omwekwekebwa eri kibuyaga n'enkuba.