Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
13 verses
1Beri avuunama, Nebo akutama; ebifaananyi biri ku nsolo ne ku bisolo: ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu, omutwalo eri ensolo ekooye.
2Bakutama bavuunama wamu; tebayinza kuwonya mugugu, naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa.
3Mumpulire ggwe ennyumba ya Yakobo, n'ekitundu kyonna ekifisseewo ku nnyumba ya Isiraeri, be nnaweekanga nze okuva mu lubuto, be nnasitulanga okuva munda:
4n'okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n'okutuusa ku nvi naabasitulanga: nze nakola era nze naaweekanga: weewaawo, naasitulanga era naawonyanga.
5Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingererako tufaanane?
6Abaggya ezaabu nnyingi mu nsawo ne bapima effeeza mu minzaani, bagulirira omuweesi wa zaabu n'agifuula katonda; bavuunamira, weewaawo, basinza.
7Bamukongojja ku kibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye n'ayimirira; mu kifo kye talisegukawo: weewaawo, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula newakubadde okumuwonya mu nnaku ze.
8Mujjukire ekyo, mwerage obusajja: mukijjukire nate, mmwe aboonoonyi.
9Mujjukire ebigambo ebyasooka eby'edda: kubanga nze Katonda so tewali mulala; nze Katonda so tewali anfaanana;
10alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n'ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby'edda; ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna:
11ayita ennyonyi ey'amaddu akuva ebuvanjuba, omusajja ow'okuteesa kwange okuva mu nsi ey'ewala; weewaawo, nayogera, n'okutuukiriza ndikituukiriza; nateesa, n'okukola ndikikola.
12Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu, abali ewala n'obutuukirivu:
13nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala n'obulokozi bwange tebulirwawo era nditeeka obulokozi mu Sayuuni ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange.