Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Ani akkiriza ebigambo byaffe: era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
2Kubanga yakulira mu maaso ge ng'ekisimbe ekigonvu era ng'ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu; talina mbala newakubadde obulungi; era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa.
3Yanyoomebwa n'agaanibwa abantu; omuntu ow'ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng'omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw'atyo, ne tutamuyitamu ka buntu.
4Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n'asitula ennaku zaffe: naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n'abonyaabonyezebwa.
5Naye yafumitibwa olw'okusobya kwaffe, yabetentebwa olw'obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw'emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya.
6Ffe fenna twawaba ng'endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna.
7Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n'atayasama kamwa ke; ng'omwana gw'endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng'endiga esirika mu maaso g'abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasama kamwa ke.
8Yaggibwawo olw'okujoogebwa n'omusango; n'eby'ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey'abalamu? yakubibwa olw'okusobya kw'abantu bange.
9Ne bamuziikira wamu n'ababi, era n'abagagga mu kufa kwe; newakubadde nga tagiranga kyejo, so nga temuli bukuusa mu kamwa ke.
10Naye Mukama yasiima okumubetenta; amunakuwazizza: bw'ofuulanga obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw'ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n'ebyo Mukama by'ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe.
11Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw'obulamu bwe, era birimumala: olw'okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12Kyendiva mmugabira omugabo wamu n'abakulu, era aligerekera omunyago wamu n'ab'amaanyi; kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n'abalirwa wamu n'abasobya: naye yeetikka ekibi ky'abangi, era yawolereza abasobya.