Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mukwatenga eby'ensonga, mukolenga eby'obutuukirivu: kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n'obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa.
2Alina omukisa omuntu akola ekyo, n'omwana w'omuntu akinyweza; akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.
3So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti Mukama talirema kunjawula n'abantu be: so n'omulaawe tayogeranga nti Laba, ndi muti mukalu.
4Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama w'abalaawe abakwata ssabbiiti zange, ne beeroboza ebyo bye nsanyukira, ne banyweza endagaano yange.
5nti Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba ne munda w'ebisenge byange; ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo.
6Era ne bannaggwanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange;
7abo ndibatuusa ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna.
8Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti Oliboolyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.
9Mmwe mwenna ensolo ez'omu nsiko, mujje okulya, mmwe mwenna ensolo ez'omu kibira.
10Abakuumi be bazibe ba maaso, bonna tebalina kumanya; bonna mbwa nsirusiru, tebayinza kuboggola; nga baloota, nga bagalamira, nga baagala okubongoota.
11Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna.
12Boogera nti Mujje, naakima omwenge, ne twekamirira ekitamiiza; n'olw'enkya luliba ng'olwa leero, olukulu olutenkanikika.