Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Ku lwa Sayuuni kyendiva nnema okusirika ne ku lwa Yerusaalemi kyendiva nnema okuwummula, okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulifuluma ng'okumasamasa, n'obulokozi bwe ng'ettabaaza eyaka.
2Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo: awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma.
3Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n'enkuufiira ey'obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
4Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n'ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika: naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n'ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa: kubanga Mukama akusanyukira, n'ensi yo erifumbirwa.
5Kuba omulenzi nga bw'awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa: era ng'awasa omugole bw'asanyukira omugole, bw'atyo Katonda wo bw'alikusanyukira.
6Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi; tebalisirika n'akatono emisana n'ekiro: mmwe abajjukiza ba Mukama, temuwummulanga,
7so temumuganyanga kuwummula, okutuusa lw'alinyweza n’afuula Yerusaalemi okuba ettendo mu nsi.
8Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n'omukono ogw'amaanyi ge nti Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y'abalabe bo; so ne bannaggwanga tebalinywa mwenge gwo gwe wakolera emirimu:
9naye abaagikungula be baligirya ne batendereza Mukama; n'abo abaagunoga be baligunywera mu mpya ez'omu watukuvu wange.
10Muyite, muyite mu nzigi; mulongoose ekkubo ery'abantu; mugulumize mugulumize enguudo; mulondemu amayinja; muyimusize amawanga ebendera.
11Laba, Mukama alangiridde enkomerero y'ensi nti Mugambe omuwala wa Sayuuni nti Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n'okusasula kwe kuli mu maaso ge.
12Era balibayita nti Bantu batukuvu, Banunule ba Mukama: naawe oliyitibwa nti Eyanoonyezebwa, Kibuga ekitalekebwa.