Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
12 verses
1Singa oyuzizza eggulu, singa osse ensozi ne zikulukuta olw'okujja kwo;
2ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, ng'omuliro bwe gweseza amazzi: okutegeeza abalabe bo erinnya lyo, amawanga gakankanire okujja kwo!
3Bwe wakola eby'entiisa bye tutasuubiranga, wakka, ensozi ne zikulukuta olw'okujja kwo.
4Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga so n'okutu tekubategeezanga so n'eriiso terirabanga Katonda wabula ggwe akolera omulimu oyo amulindirira.
5Osisinkana n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu makubo go: laba, wasunguwala naffe ne twonoona: obw'edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka?
6Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋanga ekyambalo ekikongedde: era fenna tuwotoka ng'olulagala; n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ng'empewo.
7So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe.
8Naye kaakano, ai Mukama, ggwe kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo.
9Tosunguwala nnyo nnyini, ai Mukama, so tojjukira butali butuukirivu ennaku zonna: laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo.
10Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu, Sayuuni kifuuse ddungu, Yerusaalemi matongo.
11Ennyumba yaffe entukuvu ennungi, bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, eyokeddwa omuliro; n'ebintu byaffe byonna eby'okwesiima bifaafaaganye.
12Olizibiikiriza ebyo nga bimaze okubaawo, ai Mukama olisirika n'otubonyaabonya nnyo nnyini?