Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
21 verses
1Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Edda yanyoomya ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali, naye mu kiseera eky'oluvannyuma agifudde ya kitiibwa, awali ekkubo ery'ennyanja, emitala wa Yoludaani, Ggaliraaya ey'amawanga.
2Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y'ekisiikirize ky'okufa, omusana gubaakidde bo.
3Oyazizza eggwanga, oyongedde ku ssanyu lyabwe: basanyukira mu maaso go ng'essanyu bwe liri ery'omu makungula, abasajja nga bwe basanyuka nga bagereka omunyago.
4Kubanga ekikoligo ekyamuzitoowerera, n'omuggo ogw'oku kibegabega kye, lwe luga lw'omujoozi we, obimenye nga ku lunaku lwa Midiyaani.
5Kubanga ebyokulwanyisa byonna eby'oyo alina ebyokulwanyisa mu luyoogaano, n'ebyambalo ebikulukuunyizibbwa mu musaayi, biriba bya kwokebwa bwokebwa, okuba enku ez'omuliro.
6Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi aweereddwa ffe; n'okufuga kunaabanga ku kibegabega kye: n'erinnya lye liriyitibwa nti Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ataggwaawo, Omukulu ow'emirembe.
7Okufuga kwe n'emirembe tebirikoma kweyongeranga, ku ntebe ya Dawudi, ne ku bwakabaka bwe, okubunyweza, n'okubuwanirira n'omusango n'obutuukirivu okuva leero n'emirembe n'emirembe. Obunyiikivu bwa Mukama ow'eggye bulituukiriza ekyo.
8Mukama yaweereza Yakobo ekigambo, ne kigwa ku Isiraeri.
9Era abantu bonna balimanya, Efulayimu n'abatuula mu Samaliya, aboogera n'amalala n'obukakanyavu bw'omutima nti
10Amatoffaali gagudde, naye tulizimbya amayinja amateme: enkoma zitemeddwawo, naye tulizifuula ensambya.
11Mukama kyaliva agulumiza abalabe ba Lezini okumulumba, era alisaakiriza abalabe be;
12Abasuuli mu maaso, n'Abafirisuuti emabega; era balirya Isiraeri n'akamwa akayasamye. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.
13Naye abantu tebaakyukiranga oyo eyabakuba, so tebaanoonyanga Mukama wa ggye.
14Mukama kyaliva asalako ku Isiraeri omutwe n'omukira, olukindo n'ekitoogo, ku lunaku lumu.
15Omusajja omukadde era ow'ekitiibwa gwe mutwe; ne nnabbi ayigiriza eby'obulimba gwe mukira.
16Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya; n'abo be bakulembera bazikirizibwa.
17Mukama kyaliva alema okusanyukira abavubuka baabwe, so talisaasira baana baabwe abafiiriddwa bakitaabwe ne bannamwandu baabwe: kubanga buli muntu avvoola era akola ebibi, na buli kamwa koogera eby'obusiru. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako naye omukono gwe gukyagoloddwa.
18Kubanga obubi bwokya ng'omuliro; gumalawo emyeramannyo n'amaggwa: weewaawo, gukoleera mu bisaka eby'omu kibira, ebire eby'omukka ebikutte ne binyooka ne birinnya waggulu.
19Olw'obusungu bwa Mukama ow'eggye ensi eyiiridde ddala: era n'abantu bali ng'enku ez'omuliro; tewali asonyiwa muganda we.
20Era omu alisika ku mukono ogwa ddyo, n'alumwa enjala; era alirya ku mukono ogwa kkono, so tebalikkuta: balirya buli muntu ennyama ey'omukono gwe ye:
21Manase Efulayimu; ne Efulayimu Manase: era bombi wamu balikyawa Yuda. Ebyo byonna bimaze okubaawo naye obusungu bwe tebunnakyusibwa okubavaako, naye omukono gwe gukyagoloddwa.