Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Entalo ziva wa n'okulwana kuva wa mu mmwe? Si muno, mu kwegomba kwammwe okulwana mu bitundu byammwe?
2Mwegomba so temulina: mutta, era mwegomba, ao temuyinza kufuna: mulwana era mutabaala; temulina kubanga temusaba.
3Musaba ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi; mulyoke mubikoze okwegomba kwammwe.
4Mmwe abakazi abenzi temumanyi ng'omukwano gw'ensi bwe bulabe bwa Katonda? Kale, omuntu yenna bw'ayagala okubeera mukwano gw'ensi yeefuula mulabe wa Katonda.
5Oba mulowooza ng'ekyawandiikibwa kyogerera bwereere? Omwoyo gwe yatuuza mu ffe gwegomba okuleeta obuggya?
6Naye yeeyongera okugaba ekisa. Kyekiva kyogera nti Katonda alwana n'ab'amalala, naye abawombeefu abawa ekisa.
7Kale mujeemulukukirenga Katonda; naye mulwanenga ne Setaani, naye anaabaddukanga.
8Musembererenga Katonda, naye anaabasembereranga mmwe. Munaabenga mu ngalo, abalina ebibi; era mutukuzenga emitima gyammwe, mmwe abalina emmeeme ebbiri.
9Munakuwale, mukube ebiwoobe, mukaabe: okuseka kwammwe kufuuke ebiwoobe, n'essaayu lifuuke okunakuwala.
10Mwetoowazenga mu maaso ga Mukama waffe, naye alibagulumiza.
11Temwogeraganangako bubi, ab'oluganda. Ayogera obubi ku w'oluganda, oba asalira omusango ow'oluganda, ayogera obubi ku mateeka, era asalira musango mateeka: naye bw'osalira omusango mateeka: nga toli mukozi wa mateeka, wabula omusazi w'omusango.
12Eyateeka amateeka era omusazi w'omusango ali omu, oyo ayinza okulokola n'okuzikiriza, naye ggwe asalira omusango munno ggwe ani?
13Kale nno mmwe aboogera nti Leero oba jjo tunaagenda mu kibuga gundi; tulimalayo omwaka gumu tulitunda tuliviisa amagoba:
14naye nga temutegeera bya nkya Obulamu bwammwe buli nga kiki? Muli lufu, olulabika akaseera akatono, ne lulyoka luggwaawo:
15we mwandyogeredde nti Mukama waffe bw’alyagala tuliba balamu, era tulikola bwe tuti oba bwe tuti.
16Naye kaakano mwenyumiriza mu kwekulumbaza kwammwe: okwenyumiriza kwonna okuli bwe kutyo kubi.
17Kale amanya okukola obulungi n'atakola, kye kibi eri oyo.