Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Muwulire ekigambo Mukama ky'abagamba, mmwe ennyumba ya Isiraeri:
2bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuyiganga kkubo lya mawanga, so temweraliikiriranga bubonero bwa mu ggulu; kubanga amawanga gabweraliikirira.
3Kubanga empisa ez'amawanga teziriiko kye zigasa: kubanga wabaawo omu atema omuti mu kibira, omulimu ogw'emikono gy'omukozi n'embazzi.
4Baguyonja ne ffeeza ne zaabu; bagukomerera n'enninga n'ennyondo gulemenga okusagaasagana.
5Bifaanana olukoma oluliko enjola so tebyogera: tebirema kusitulibwa kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga; kubanga tebiyinza kukola bubi so n'okukola obulungi tekuli mu byo.
6Tewali afaanana ggwe, ai Mukama; ggwe mukulu, n'erinnya lyo kkulu mu buyinza.
7Ani atandikutidde, ai Kabaka w'amawanga? kubanga kukugwanira ggwe: kubanga mu bagezigezi bonna ab'amawanga ne mu kitiibwa kyabwe kyonna ekya bakabaka temuli akufaanana ggwe.
8Naye bo bonna wamu bali ng'ensolo, basirusiru: okuyigiriza kw'ebifaananyi kisiki busiki.
9Waliwo ffeeza eyaweesebwa okuba ey'empewere eyaggibwa e Talusiisi, ne zaabu eyava e Yufazi, omulimu ogwa fundi, n'ogw'emikono gy'omuweesi wa zaabu; kaniki n’olugoye olw'effulungu okuba ebyambalo byabyo; byonna mulimu gwa basajja abakabakaba.
10Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima; oyo ye Katonda omulamu, era Kabaka ataggwaawo: ensi ekankana olw'obusungu bwe, so n'amawanga tegayinza kugumiikiriza kunyiiga kwe.
11Bwe muti bwe muba mubaganba nti Bakatonda abatakola ggulu na nsi, abo balibula mu nsi n'okuva wansi w'eggulu.
12Yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe:
13bw'aleeta eddooozi lye, ne waba oluyoogaano alw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge.
14Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ensonyi zimukwata olw'ekifaananyi kye ekyole: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so temuli mukka mu byo.
15Tebiriiko kye bigasa, mulimu gwa bulimba: biribulira mu biro mwe birijjirirwa.
16Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo; kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe: Mukama w'eggye lye linnya lye.
17Kuŋŋaanya eby'obuguzi bwo obiggye mu nsi, ggwe atuula mu kibuga ekizingizibwa.
18Kubanga bw’ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndivuumuula abatuula mu nsi okubaggyamu mu biro bino, era ndibasaasaanya, balumibwe.
19Zinsanze olw'ekiwundu kyange! ekiwundu kyange kinnuma nnyo: naye ne njogera nti Mazima buno bwe buyinike bwange, era kiŋŋwanira okubugumiikiriza.
20Eweema yange enyagiddwa, n'emigwa gyange gyonna gikutuse: abaana bange banvuddemu, so tebaliiwo: tewakyali wa kubamba weema yange, newakubadde ow'okusimba amagigi gange.
21Kubanga abasumba bafuuse ng'ensolo, so tebabuuzizza Mukama: kyebavudde balema okulaba omukisa, n'embuzi zaabwe zonna zisaasaanye.
22Eddoboozi ery'ekigambo kye babuulira, laba, lijja, n'okusasamala okunene okuva mu nsi ey'obukiika obwa kkono, okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ekisulo eky'ebibe.
23Ai Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.
24Ai Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza.
25Fukira ddala ekiruyi kyo ku b'amawanga abatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo: kubanga balidde Yakobo, weewaawo, bamulidde, bamumazeewo, bazisizza ekifo kye mw'abeera.