Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
37 verses
1Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2Genda oyogerere waggulu mu matu ga Yerusaalemi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkujjuukirira ku kisa eky'omu buto bwo, okwagala okw'okwogerezebwa kwo; bwe wangoberera mu ddungu mu nsi etaalimu bisige.
3Isiraeri yali butukuvu eri Mukama, ebibala ebibereberye eby'oku kyengera kye: bonna abamulya baliyitibwa abazzizza omusango: obubi bulibatuukako, bw'ayogera Mukama.
4Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe ennyumba ya Yakobo, n'ebika byonna eby'ennyumba ya Isiraeri:
5Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Butali butuukirivu ki bajjajjammwe bwe baalaba mu nze n'okugenda bagenze wala okunvaako, ne batambula okugoberera obutaliimu ne bafuuka abataliimu?
6So tebayogera nti Mukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey'amalungu n'obunnya, mu nsi ey'ennyonta n'ey'ekisiikirize eky'okufa, mu nsi omuntu yenna gy'atayitamu, so n'omuntu yenna mw'atabeera?
7Ne mbaleeta mu nsi ey'ekyengera, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu; naye bwe mwayingira ne mwonoona ensi yange, ne mufuula obusika bwange okuba omuzizo.
8Bakabona tebayogera nti Mukama ali ludda wa? n'abo abatogaatoga amateeka tebammanya: era n'abakungu ne bansobya, bannabbi ne balagula ku lwa Baali ne batambula nga bagoberera ebitaliiko kye bigasa.
9Kyennaava neeyongera okuwoza nammwe, bw'ayogera Mukama, era ndiwoza n'abaana b'abaana bammwe.
10Kubanga muwunguke mugende ku bizinga bya Kittimu mulabe; mutume e Kedali, mwetegereze nnyo; mulabe oba nga waali wabaddewo ekigambo ekyenkana awo.
11Waliwo eggwanga eryawaanyisa bakatonda baabwe, abatali bakatonda naye? naye abantu bange baawaanyisa ekitiibwa kyabwe olw'ekyo ekitaliiko kye kigasa.
12Samaaliririra ekyo, ggwe eggulu, otye ekitatiika, owuubaale nnyo, bw'ayogera Mukama.
13Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri; bandese nze oluzzi olw'amazzi amalamu, ne beesimira ebidiba, ebidiba ttanka z'omu ttaka, ebitayinza kubaamu mazzi.
14Isiraeri muddu? muddu eyazaalibwa mu nnyumba? kiki ekimufudde omuyiggo?
15Empologoma ento zimuwulugumiddeko ne zivuuma: ne zizisa ensi ye; ebibuga bye byokereddwa ddala awatali abituulamu.
16Era abaana ba Noofu ne Tapanesi bamenye obwezinge bwo.
17Teweereeseeko ekyo kubanga olese Mukama Katonda wo, bwe yakuluŋŋamiza mu kkubo?
18Kale nno ofaayo ki mu kkubo erigenda e Misiri okunywa amazzi ga Sikoli? oba ofaayo ki mu kkubo erigenda e Bwasuli, okunywa amazzi ag'Omugga?
19Obubi bwo ggwe bulikubuulirira, n'okuseeseetuka kwo kulikunenya: kale manya olabe nga kigambo kibi era kya bubalagaze, kubanga olese Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe, bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
20Kubanga obw'edda namenya ekikoligo kyo, ne nkutula ebisiba byo; n'oyogera nti Sijja kuweereza; kubanga wakutama ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi nga weefuula omwenzi.
21Era naye nali nkusimbye muzabbibu mulungi, ensigo ey'amazima ameereere: kale ofuuse otya gye ndi omuti ogwayonooneka ogw'omuzabbibu ogw'omu kibira?
22Kubanga newakubadde ng'onaaba n'oluvu n'okozesa ne sabbuuni mungi, naye obutali butuukirivu bwo bulambiddwa mu maaso gange, bw'ayogera Mukama Katonda.
23Oyinza otya okwogera nti Soonoonese, siigobereranga Babaali? laba ekkubo lyo mu kiwonvu, otegeere bye wakola; oli ŋŋamira ya mbiro ng'eyitaayita mu makubo gaayo;
24entulege eyamanyiira amalungu ekonga empewo nga yeegomba; mu kiseera kyayo ani ayinza okugikyusa? zonna eziginoonya teziryekooya; zinaagirabira mu mwezi gwayo.
25Ziyiza ekigere kyo oleme okuba atalina ngatto, n'omumiro gwo oleme okulakasira ennyonta; naye n'oyogera nti Tewali ssuubi nedda; kubanga njagadde bannaggwanga, era be ndigoberera.
26Omubbi nga bw'akwatibwa ensonyi bw'alabika, n'ennyumba ya Isiraeri bw'ekwatibwa ensonyi bw'eti; bo ne bakabaka baabwe n'abakulu baabwe ne bakabona ne bannabbi baabwe;
27abagamba ekikonge nti Ggwe kitange; n'ejjinja nti Ggwe onzaala: kubanga bankubye amabega so si maaso gaabwe: naye mu biro mwe balirabira ennaku balyogera nti Golokoka otulokole.
28Naye ba katonda bo be weekoledde bali ludda wa? bo bagolokoke oba nga bayinza okukulokola mu biro mw'olabira ennaku: kubanga ebibuga byo nga bwe byenkana, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, gwe Yuda.
29Kiki ekibaagaza okuwoza nange? mwenna munsobezza, bw'ayogera Mukama.
30Abaana bammwe mbakubidde bwereere; tebaganyizza kubuulirirwa: ekitala kyammwe mmwe kimazeewo bannabbi bammwe ng'empologoma ezikiriza.
31Mmwe ab'omu mirembe gino, mulabe ekigambo kya Mukama. Naabanga ddungu eri Isiraeri? oba nsi ya kizikiza ekikutte? abantu bange ekiboogeza ki nti Tutaaluuse; tetukyajja gy'oli nate?
32Omuwala ayinza okwerabira ebibye eby'obuyonjo, oba omugole ebyambalo bye? naye abantu bange banneerabidde ennaku nnyingi ezitabalika.
33Ng'olongoosa ekkubo lyo okunoonya okwagalibwa! kyovudde oyigiriza n'abakazi ababi amakubo go.
34Era ku birenge byo kulabise omusaayi gw'emmeeme z'abaavu abataliiko musango: sigulabye mu kituli ekisimibwa wabula ku bino byonna.
35Era naye n'oyogera nti Siriiko musango; mazima obusungu bwe bukyuse okunvaako. Laba, ndiwoza naawe kubanga oyogera nti Soonoonanga.
36Otambuliratambulira ki ennyo bw'otyo okuwaanyisa ekkubo lyo? era olikwatibwa ensonyi ne ku lwa Misiri, nga bwe wakwatibwa ensonyi ku lwa Bwasuli.
37Era ne gy'ali olivaayo nga weetisse emikono: kubanga Mukama agaanyi ebyo bye weesiga, so toliraba mukisa mu byo.