Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Awo Pasukuli mutabani wa Immeri kabona, eyali omwami omukulu ow'omu nnyumba ya Mukama, n’awulira Yeremiya ng'alagula ebyo.
2Awo Pasukuli n'akuba Yeremiya nnabbi n'amusiba mu nvuba eyali mu mulyango ogw'engulu ogwa Benyamini ogwali mu nnyumba ya Mukama.
3Awo olwatuuka enkya Pasukuli n'aggya Yeremiya mu nvuba. Awo Yeremiya n'amugamba nti Mukama takutuumye linnya lyo Pasukuli wabula Magolumissabibu.
4Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikufuula eky'entiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo bonna: era baligwa n'ekitala eky'abalabe baabwe, n'amaaso go galikiraba: era ndiwa Yuda yenna mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, naye alibatwala e Babulooni nga basibe, era alibatta n'ekitala.
5Era nate ndiwa obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'amagoba gaamu gonna n'ebintu byamu byonna eby'omuwendo omungi, weewaawo, ebintu byonna ebya bassekabaka ba Yuda ndibiwa mu mukono gw'abalabe baabwe, abalibanyaga ne babakwata ne babatwala e Babulooni.
6Naawe, Pasukuli, n'abo bonna abali mu nnyumba yo baligenda mu busibe: era olituuka e Babulooni, era olifiira eyo, era oliziikirwa eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be walagula eby'obulimba.
7Ai Mukama, wannimba nze ne nnimbibwa: onsinga nze amaanyi era owangudde: nfuuse ekisekererwa okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira.
8Kubanga buli lwe njogera, njogerera waggulu; njogerera waggulu nti Ekyejo n'okunyaga: kubanga ekigambo kya Mukama bakifuula ekivume gye ndi n'eky'okusekererwa okuzibya obudde.
9Era bwe njogera nti Siimwogereko so sikyayogerera mu linnya lye, kale mu mutima gwange muba ng'omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza so siyinza kubeerera awo.
10Kubanga mpulidde okulyolyoma kw'abangi, entiisa enjuyi zonna. Muloope, naffe tunaamuloopa bwe boogera mikwano gyange ennyo bonna, bo abalabirira okuwenyera kwange; mpozzi anaasendebwasendebwa, naffe tunaamuwangula, era tulimuwalanako eggwanga:
11Naye Mukama ali nange ng'ow'amaanyi ow'entiisa: abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula: baliswala nnyo, kubanga tebakoze bya magezi, balikwatibwa ensonyi ezitaliggwaawo eziteerabirwenga ennaku zonna.
12Naye, ai Mukama w'eggye, akema omutuukirivu, alaba emmeeme ey'omunda, ndabe eggwanga lyo ly'oliwalana ku bo; kubanga nkubikkulidde ensonga yange.
13Muyimbire Mukama, mutendereze Mukama: kubanga awonyezza emmeeme y'oyo eyeetaaga mu mukono gw'abo abakola obubi.
14Olunaku kwe nnazaalirwa lukolimirwe: olunaku mmange kwe yanzaalira luleme okuweebwa omukisa.
15Akolimirwe oyo eyamuleetera kitange ebigambo nti Ozaaliddwa mwana wa bulenzi; ng'amusanyusa nnyo.
16Era omusajja oyo abeere ng'ebibuga Mukama bye yasuula n'ateenenya: awulire okukaaba enkya, n'okwogerera wa ggulu mu ttuntu;
17kubanga teyanzita bwe nnava mu lubuto; bw'atyo mmange yandibadde entaana yange, n'olubuto lwe lwandibadde lukulu ennaku zonna.
18Naviira ki mu lubuto okulaba okutegana n'obuyinike, ennaku zange zimalibwewo olw'ensonyi?