Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Mukama yanjolesa, era, laba, ebibbo bibiri eby'ettiini ebiteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama; Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni ng'amaze okutwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'abakungu ba Yuda wamu ne bafundi n'abaweesi okubaggya mu Yerusaalemi, era ng'abatutte e Babulooni.
2Ekibbo ekimu kyalimu ettiini nnungi nnyo, ng'ettiini ezisooka okwengera: n'ekibbo eky'okubiri kyalimu ettiini mbi nnyo ezitaliika, kubanga zaayinga obubi.
3Awo Mukama n'aŋŋamba nti Olaba ki, Yeremiya? Ne njogera nti Ttiini; ettiini ennungi nnungi nnyo; n'embi mbi nnyo ezitaliika, kubanga ziyinga obubi.
4Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
5Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Ng'ettiini zino ennungi, bwe ntyo bwe ndirowooza abasibe ba Yuda, be nnasindiikiriza okuva mu kifo kino okugenda mu nsi ey'Abakaludaaya, olw'obulungi.
6Kubanga nditeeka amaaso gange ku bo olw'obulungi, era ndibakomyawo nate mu nsi eno: era ndibazimba so siribaabya; era ndibasimba so siribasimbula.
7Era ndibawa omutima okummanya nga ndi Mukama: era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe: kubanga balikomawo gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.
8Era ng'ettiini embi ezitaliika, kubanga ziyinga obubi; mazima bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abakungu be n'abafikkawo ku Yerusaalemi abaasigala mu nsi eno n'abo abali mu nsi y'e Misiri:
9ndibagabula okuyuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka bwe zenkana olw'obubi; okuba ekivume n'olugero n'ekikiino n'ekikolimo mu bifo byonna gye ndibagobera.
10Era ndiweereza ekitala n'enjala ne kawumpuli mu bo okutuusa lwe balimalibwawo okuva ku nsi gye nnawa bo ne bajjajjaabwe.