Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti
2Bw'ati Mukama bw'aŋŋamba nti Weekolere ebisiba n'emiti egy'ekikoligo obiteeke mu bulago bwo;
3obiweereze kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w'abaana ba Amoni ne kabaka w'e Ttuulo ne kabaka w'e Sidoni mu mukono gw'ababaka abajja e Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda;
4obalagire ebigambo eby'okutwalira bakama baabwe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isireari nti Bwe muti bwe muligamba bakama bammwe nti
5Nze nakola ensi, omuntu n'ensolo ebiri ku nsi, n'obuyinza bwange obungi n'omukono gwange ogugoloddwa; era nze ngiwa gwe nsiima.
6Era kaakano mpadde ensi zino zonna mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni omuddu wange; era mmuwadde n'ensolo ez'omu nsiko okumuweerezanga.
7N'amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n'omwana wa mutabani we okutuusa ebiro eby'ensi ye lwe birituuka: kale amawanga mangi ne bakabaka abakulu ne balyoka bamufuula omuddu.
8Awo olulituuka eggwanga n'obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w'e Babulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw'ayogera Mukama, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n'omukono gwe.
9Naye mmwe temuwuliranga bannabbi bammwe newakubadde abafumu bammwe newakubadde ebirooto byammwe newakubadde abalogo bammwe newakubadde abasamize bammwe ababagamba nti Temuliweereza kabaka w'e Babulooni:
10kubanga babalagula kya bulimba okubatwala ewala n'ensi yammwe; era ndyoke mbagobemu ne muzikirira.
11Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw'ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo.
12Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti Muteeke ensingo zammwe wansi w'ekikoligo kya kabaka w'e Babulooni, mumuweereze ye n'abantu be mubeere abalamu.
13Mwagalira ki okufa, ggwe n'abantu bo, n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw'ayogedde: eby'eggwanga eritalikkiriza kuweereza kabaka w'e Babulooni?
14So temuwuliranga bigambo bya bannabbi aboogera nammwe nti Temuliweereza kabaka w’e Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba.
15Kubanga sibatumanga, bw'ayogera Mukama, naye balagulira mu linnya lyange obulimba; ndyoke mbagobemu ne muzikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula.
16Era ne ŋŋamba ne bakabona n'abantu bano bonna nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti Laba, ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba.
17Temubawuliranga; muweereze kabaka w’e Babulooni mubeere abalamu: ekibuga kino kiki ekinaaba kikifuusa amatongo.
18Naye oba nga bannabbi, n'ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w'eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okugenda e Babulooni.
19Kubanga bw'ati bw'ayogera Mu kama w'eggye eby'empagi n'eby'ennyanja n'eby'entebe n'eby'ebintu ebifisseewo ebisigadde mu kibuga kino,
20Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni by'ataatwala bwe yatwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n'amuggya e Yerusaalemi n'amutwala e Babulooni n'abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi
21weewaawo, bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, eby'ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi nti
22Biritwalibwa e Babulooni, era biribeera eyo okutuusa ku lunaku lwe ndibajjira bw'ayogera Mukama; kale ne ndyoka mbaggyayo ne mbikomyawo mu kifo kino.