Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
18 verses
1Awo olwatuuka Yerusaalemi bwe kyamenyebwa, (mu mwaka ogw'omwenda ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni mwe yajjira n'eggye lye lyonna okutabaala Yerusaalemi n'akizingiza;
2mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Zeddekiya mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'omwenda mwe baawagulira ekituli mu kibuga:)
3abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bayingira ne batuula mu mulyango ogwa wakati, Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n'abakungu bonna abalala aba kabaka w'e Babulooni.
4Awo olwatuuka Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abasajja bonna abalwanyi bwe baabalaba, kale ne badduka ne bava mu kibuga kiro mu kkubo ery'olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati wa babbugwe ababiri: n'afuluma mu kkubo erya Alaba.
5Naye eggye ery'Abakaludaaya ne libagoberera ne bayisiriza Zeddekiya mu nsenyi ez'e Yeriko: awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi, n'amusalira omusango.
6Awo kabaka w'e Babulooni n'attira batabani ba Zeddekiya e Libula ye ng'alaba: era kabaka w’e Babulooni n'atta n'abakungu bonna aba Yuda.
7Era n'aggyamu Zeddekiya amaaso, n'amusiba n'amasamba okumutwala e Babulooni.
8Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n'ennyumba ez'abantu omuliro, ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi.
9Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala e Babulooni nga basibe abantu abafisseewo abaali basigadde mu kibuga, era n'abasenze abaamusenga, n'abantu abafisseewo abaali basigaddewo.
10Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka ku baavu ab'omu bantu abaali batalina kintu mu nsi ya Yuda, n'abawa ensuku ez'emizabbibu n'ennimiro mu biro ebyo.
11Awo Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni n'alagira Nebuzaladaani omukulu w'abambowa ebya Yeremiya ng'ayogera nti
12Mutwale omukuume nnyo, so tomukola kabi; naye omukolanga era nga ye bw'anaakugambanga.
13Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atuma, ne Nebusazubaani, Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, Labumagi, n'abaami bonna abakulu aba kabaka w'e Babulooni;
14ne batuma ne baggya Yeremiya mu luggya olw'abambowa ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani amutwale eka: awo n'abeera mu bantu.
15Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya bwe yali ng'asibiddwa mu luggya olw'abambowa; nga kyogera nti
16Genda ogambe Ebedumereki Omuwesiyopya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isirarei nti Laba; ndireeta ebigambo byange ku kibuga kino olw'obubi so si lwa bulungi; era birituukirizibwa mu maaso go ku lunaku luli.
17Naye ndikuwonyeza ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama: so toliweebwayo mu mukono gw'abasajja b'otya.
18Kubanga Sirirema kukulokola so toligwa n'ekitala, naye obulamu bwo buliba munyago gy'oli: kubanga weesize nze, bw'ayogera Mukama.