Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Bw'onokkiriza okukomawo, ggwe Isiraeri, bw'ayogera Mukama, eri nze gy'olidda: era bw'onoggyawo emizizo gyo mu maaso gange, kale tolijjulukuka;
2awo olirayiranga nti Mukama nga bw'ali omulamu mu mazima ne mu musango ne mu butuukirivu; n'amawanga ganeesabiranga omukisa mu ye, era mu ye mwe baneenyumiririzanga.
3Kubanga bw'atyo Mukama bw'agamba abasajja ba Yuda ne Yerusaalemi nti Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, so temusiganga mu maggwa.
4Mwekomole eri Mukama, muggyewo ebikuta eby'emitima gyammwe, mmwe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi: ekiruyi kyange kireme okufuluma ng'omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza olw'obubi obw'ebikolwa byammwe.
5Mulangirire mu Yuda, mulaalike mu Yerusaalemi; mwogere nti Mufuuwe ekkondeere mu nsi; mwogerere waggulu mwogere nti Mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera.
6Musimbe ebendera okwolekera Sayuuni: mudduke muwone, temulwawo: kubanga ndireeta obubi obuliva obukiika obwa kkono n'okuzikiriza okunene.
7Empologoma erinnye okuva mu kisaka kyayo, era omuzikiriza w'amawanga; akutte ekkubo, avudde mu kifo kye; okuzisa ensi yo, ebibuga byo babizise obutabaamu abibeeramu.
8Olwekyo mwambale ebibukutu, mukungubage muwowoggane: kubanga ekiruyi kya Mukama tekikyuse okutuvaako.
9Awo olutituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, omutima gwa kabaka gulizikirira, n'omutima gw'abakulu; ne bakabona balisamaalirira ne bannabbi balyewuunya.
10Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! mazima olimbye nnyo eggwanga lino ne Yerusaalemi ng'oyogera nti Muliba n'emirembe; naye ekitala kituuka ku mmeeme.
11Mu biro ebyo baligamba eggwanga lino ne Yerusaalemi nti Embuyaga ez'olubugumu eziva ku nsozi ez'obweru mu ddungu ezoolekera omuwala w'abantu bange, si za kuwujja so si za kulongoosa;
12embuyaga nnyingi eziva ku ezo zirijja ku lwange: kaakano nange naayogera emisango ku bo.
13Laba, alirinnya ng'ebire, n'amagaali ge galiba ng'empewo ez'akazimu: embalaasi ze za mbiro okukira empungu. Zitusanze! kubanga tunyagiddwa.
14Ai Yerusaalemi, naaza omutima gwo guggweemu obubi, olyoke olokoke. Ebirowoozo byo ebibi birituusa wa okubeera mu nda yo?
15Kubanga eddoboozi lirangirira nga liyima e Ddaani, era liraalika obubi nga liyima ku nsozi za Efulayimu:
16mubuulire amawanga; laba, mulaalike eri Yerusaalemi ng'abakuumi bava mu nsi ey'ewala ne balangirira ebibuga bya Yuda n'eddoboozi lyabwe.
17Bakyetoolodde enjuyi zonna ng'abakuuma ennimiro; kubanga kyanjeemera, bw'ayogera Mukama.
18Ekkubo lyo n'ebikolwa byo bye bikufunidde ebyo; buno bwe bubi bwo; kubanga bwa bubalagaze, kubanga butuuka ne ku mutima gwo.
19Emmeeme yange, emmeeme yange! omutima gwange gunnuma munda mwennyini; omutima gwange gweraliikiridde mu nze; siyinza kusirika; kubanga owulidde, ai emmeeme yange, eddoboozi ly'ekkondeere, nga liraye.
20Okuzikirizibwa okuli kungulu w'okuzikirizibwa kulangirirwa; kubanga ensi yonna enyagiddwa: eweema zange zinyagiddwa nga simanyiridde, n'amagigi gange mu kaseera kamu.
21Ndituusa wa okulaba ebendera ne mpulira eddoboozi ly'ekkondeere?
22Kubanga abantu bange basirusiru, tebammanyi; biwowongole bya baana, so tebalina kutegeera: ba magezi mu kukola obubi, naye mu kukola obulungi tebalina kumanya.
23Nalaba ensi, era, laba, nga njereere nga yeetabuddetabudde; n'eggulu nga temuli musana.
24Nalaba ensozi, era, laba, nga zikankana, obusozi bwonna ne buyuuguuma eruuyi n'eruuyi.
25Natunula, era, laba, nga tewali muntu, n'ennyonyi zonna ez'omu bbanga nga zidduse.
26Natunula, era, laba, ennimiro eŋŋimu nga zifuuse nkoola, n'ebibuga byamu byonna nga bimenyesemenyese, olw'okujja kwa Mukama ne mu maaso g'ekiruyi kye.
27Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ensi yonna eriba nsiko; naye sirikomekkerereza ddala.
28Ensi kyeriva ewuubaala, n'eggulu eriri waggulu liriddugala: kubanga nze nkyogedde, nkimaliridde, so sejjusizza, so siridda nnyuma okukireka.
29Ekibuga kyonna kidduka olw'okuyoogaana kw'abo abeebagadde embalaasi n'ab'emitego; bayingira mu bisaka, ne balinnya ku mayinja buli kibuga kirekeddwa, so tewali muntu atuula omwo.
30Naawe bw'olinyagibwa olikola otya? Newakubadde ng'oyambala olugoye olutwakaavu, newakubadde nga weeyonja n'ebintu ebya zaabu, newakubadde ng'ogaziya amaaso go nga weesiigako eddagala, weefuulira bwereere omulungi: baganzi bo bakunyooma, banoonya obulamu bwo.
31Kubanga mpulidde eddoboozi ng'ery'omukazi alumwa okuzaala, obubalagaze obuli ng'obwoyo azaala omwana we omubereberye, eddoboozi ly'omuwala wa Sayuuni alaakiira, ayanjala engalo ze ng'ayogera nti Zinsanze kaakano! kubanga emmeeme yange ezirika mu maaso g'abassi.