Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
22 verses
1Awo abaami bonna ab'ebitongole ne Yokanani mutabani wa Kaleya ne Yezaniya mutabani wa Kosaaya n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu,
2ne basembera ne bagamba Yeremiya nnabbi nti Tukwegayiridde, okusaba kwaffe kukkirizibwe gy'oli, otusabire eri Mukama Katonda wo, ng'osabira ekitundu kino kyonna ekifisseewo; kubanga tusigaddewo batono fekka abaabanga abangi ng'amaaso go bwe gatulaba:
3Mukama Katonda wo atulage ekkubo eritugwanira okutambuliramu n'ekigambo ekitugwanira okukola.
4Awo Yeremiya nnabbi n'abagamba nti Mbawulidde; laba, naasaba Mukama Katonda wammwe ng'ebigambo byammwe bwe biri; kale olulituuka kyonna Mukama ky'alibaddamu ndikibabuulira; siribakisa kigambo kyonna.
5Awo ne bagamba Yeremiya nti Mukama abe omujulirwa ow'amazima omwesigwa mu ffe, bwe tutalikola ng'ekigambo kyonna bwe kiriba Mukama Katonda wo ky'alikutuma gye tuli.
6Oba nga kirungi oba nga kibi, tuligondera eddoboozi lya Mukama Katonda waffe gye tukutuma; tulyoke tubenga bulungi bwe tugondera eddoboozi lya Mukama Katonda waffe.
7Awo olwatuuka ennaku kkumi bwe zaayitawo, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya.
8Awo n'ayita Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali naye, n'abantu bonna okuva ku muto okutuuka ku mukulu,
9n'abagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri gwe mwantuma okwanjula okusaba kwammwe mu maaso ge, nti
10Bwe mulikkiriza okubeera mu nsi eno, kale ndibazimba, so siribaabya, era ndibasimba, so siribasimbula: kubanga nejjusizza obubi bwe nnabakola.
11Temutya kabaka w'e Babulooni gwe mutya; temumutya, bw'ayogera Mukama: kubanga nze ndi wamu nammwe okubalokola n'okubawonya mu mukono gwe.
12Era ndibawa okusaasirwa abasaasire, era abazzeeyo mu nsi yammwe.
13Naye bwe munaagamba nti Tetugenda kutuula mu nsi eno; ne mutagondera ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe;
14nga mwogera nti Nedda; naye tuligenda mu nsi y'e Misiri gye tutalirabira ntalo, so tetuliwulira ddoboozi lya kkondeere, so tetulirumwa njala olw'emmere; n'eyo gye tulituula:
15kale nno muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abafisseewo ku Yuda: bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Bwe mulikakasa amaaso gammwe ddala okuyingira mu Misiri, ne mugenda okubeera omwo;
16kale olulituuka ekitala kye mutya kiribakwatira eyo mu nsi y'e Misiri, n'enjala gye mutidde eribacoccera eyo mu Misiri; era eyo gye mulifiira.
17Bwe kityo bwe kiriba eri abasajja bonna abakakasa amaaso gaabwe okugenda e Misiri okubeera eyo; balifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli: so tewaliba ku bo abalifikkawo newakubadde okuwona obubi bwe ndibaleetako.
18Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Obusungu bwange n'ekiruyi kyange nga bwe byafukibwa ku abo abaali mu Yerusaalemi, ekiruyi kyange bwe kirifukibwa ku mmwe bwe kityo bwe muliyingira mu Misiri: era muliba kikolimo n'ekyewuunyo n'okukolima n'ekivume; so temuliraba nate kifo kino.
19Mukama ayogedde ku mmwe, ai ekitundu ekifisseewo ku Yuda, nti Temugenda mu Misiri: mutegeerere ddala nga leero nze mbadde mujulirwa gye muli.
20Kubanga mukoze emmeeme zammwe mmwe eby'obukuusa; kubanga mwantuma eri Mukama Katonda wammwe nga mwogera nti Tusabire eri Mukama Katonda waffe; era nga byonna bwe biriba; Mukama Katonda waffe by'alyogera, tubuulire bw'otyo, naffe tulibikola:
21era leero mbibabuulidde; naye temugondedde ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe mu kyonna ky'antumye gye muli
22Kale nno mutegeerere ddala nga mulifa n'ekitala n'enjala ne kawumpuli, mu kifo gye mwagala okugenda okubeera.