Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
46 verses
1Ekigambo Mukama kye yayogera ekifa ku Babulooni, eky'ensi ey'Abakaludaaya, mu Yeremiya nnabbi.
2Mubuulire mu mawanga, mulangirire, musimbe ebendera; mulaalike, so temukisa: mwogere nti Babulooni kimenyeddwa, Beri akwatiddwa ensonyi, Merodaaki akeŋŋentereddwa; ebifaananyi byakyo bikwatiddwa ensonyi, esanamu zaakyo zikeŋŋentereddwa.
3Kubanga mu bukiika obwa kkono evaayo eggwanga okukitabaala, erizisa ensi yaakyo, so tewaliba alibeera omwo: badduse, bagenze, abantu era n'ensolo.
4Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, abaana ba Isiraeri balijja, bo n'abaana ba Yuda wamu; balikwata ekkubo lyabwe nga bakaaba amaziga, era balinoonya Mukama Katonda waabwe.
5Balibuuza ebya Sayuuni, amaaso gaabwe nga gatunulayo, nga boogera nti Mujje mwegatte ne Mukama nga mulagaanye endagaano eteriggwaawo eteryerabirwa.
6Abantu bange baabanga ndiga ezaabula: abasumba baabwe baabawabya, baabakyamiza ku nsozi: baavanga ku lusozi ne bagendanga ku kasozi, beerabidde ekifo kyabwe eky'okuwummuliramu.
7Bonna abaabalaba babalidde: n'abalabe baabwe ne boogera nti Tetwonoona kubanga bo basobezza Mukama, omubeera obutuukirivu, Mukama essuubi lya bajjajjaabwe.
8Mudduke muve wakati mu Babulooni, muve mu nsi ey'Abakaludaaya, mubeere ng'embuzi emmandwa mu maaso g'ebisibo.
9Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky'amawanga amakulu ne mbatabaaza Babulooni okuva mu nsi ey'obukiika obwa kkono: era balisimba ennyiriri okulwana nakyo; kiriggibwa eyo: obusaale bwabwe buliba ng'obw'omusajja ow'amaanyi omukabakaba; tewaliba alidda obusa.
10Kale Obukaludaaya buliba munyago: bonna ababunyaga balikkuta, bw'ayogera Mukama.
11Kubanga musanyuse, kubanga mujaguza, mmwe abanyaga obusika bwange, kubanga muligita ng'ente enduusi ewuula, ne mufugula ng'embalaasi ez'amaanyi;
12nnyammwe alikwatibwa ensonyi nnyingi nnyo; eyabazaala aliswala: laba, aliba wa nkomerero mu mawanga, olukoola, ensi enkalu, n'eddungu.
13Olw'obusungu bwa Mukama kyeriva erema okutuulwamu, naye erirekerwawo ddala: buli ayita ku Babulooni alisamaalirira n'asooza ebibonoobono byakyo byonna.
14Musimbe ennyiriri okulwana ne Babulooni enjuyi zonna, mmwe mwenna abanaanuula omutego; mukirase, temusaasira busaale: kubanga kyayonoona Mukama.
15Mukireekaanireko enjuyi zonna; kijeemulukuse; amakomera gaakyo gagudde, babbugwe baakyo basuuliddwa: kubanga lye ggwanga Mukama ly'awalana; mukiwalaneko eggwanga; nga bwe kyakolanga mukikole bwe mutyo.
16Mumaleewo asiga mu Babulooni, n'oyo akwata ekiwabyo mu biro eby'okukunguliramu: olw'okutya ekitala ekijooga balikyukira buli muntu eri abantu b'ewaabwe, era baliddukira buli muntu mu nsi y'ewaabwe.
17Isiraeri ndiga ewabye; empologoma zimugobye kabaka w’e Bwasuli ye yasooka okumulya; ne Nebukadduleeza ono kabaka w’e Babulooni ye w'enkomerero, amenye emagumba ge.
18Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n'ensi ye nga bwe nnabonereza kabaka w’e Bwasuli.
19Era ndikomyawo Isiraeri nate mu ddundiro lye, era aliriira ku Kalumeeri ne Basani, n'emmeeme ye erikkutira ku nsozi za Efulayimu, ne mu Gireyaadi.
20Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, obutali butuukirivu bwa Isiraeri balibunoonya so nga tewali; n'ebibi bya Yuda, so tebirirabika: kubanga ndisonyiwa abo be ndireka okuba ekitundu ekifisseewo.
21Tabaala ensi y'e Merasayimu, gy'oba otabaala, n'abo abali mu Pekodi: otte ozikiririze ddala ennyuma waabwe, bw'ayogera Mukama, okole nga byonna bwe biri bye nnakulagira.
22Eddoboozi ery'entalo liri mu nsi n'ery'okuzikirira okunene.
23Ennyondo ey'ensi zonna ng'etemeddwa ng'emenyese! Babulooni nga kifuuse amatongo mu mawanga!
24Nakutegera omutego, n'okukwatibwa okwatiddwa, ai Babulooni, so tewamanyirira: olabise n'okukwatibwa okwatiddwa, kubanga wawakana ne Mukama.
25Mukama asumuludde etterekero ly'ebyokulwanyisa bye, era aggyeemu ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe: kubanga Mukama, Mukama w'eggye, alina omulimu gw'agenda okukola mu nsi ey'Abakaludaaya.
26Mujje mukirumbe nga muva ku nsalo ekomererayo, musumulule amawanika gaakyo: mukituume nga bifunvu, mukizikiririze ddala: waleme okubaawo ekintu ekisigala ku kyo.
27Mutte ente zaakyo zonna; ziserengete mu kuttibwa: zizisanze! kubanga olunaku lwazo lutuuse, olunaku kwe zirijjirwa.
28Eddoboozi ly'abo abadduka ne bawona mu nsi y'e Babuloomi, okubuulira mu Sayuuni eggwanga Mukama Katonda waffe ly'aliwalana, ly'aliwalana olwa yeekaalu ye.
29Muyite abalasi bakuŋŋaane balumbe Babulooni, abo bonna abanaanuula omutego, musiisire okukyolekera enjuyi zonna; waleme okuba aliwona ku kyo: musasule ng'omulimu gwakyo bwe gwali; nga byonna bwe biri bye kyakolanga, bwe mutyo mukikolanga: kubanga yabanga wa malala eri Mukama, eri Omutukuvu owa Isiraeri.
30Abalenzi baakyo kye baliva bagwira mu nguudo zaakyo, abasajja baakyo bonna abalwanyi balisirisibwa ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama.
31Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe alina amalala, bw'ayogera Mukama, Mukama w'eggye: kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera mwe nnaakujjirira.
32Alina amalala alyesittala n'agwa, so tewaliba alimuyimusa; era ndikuma omuliro mu bibuga bye, era gulyokya bonna abamwetoolodde.
33Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda babajoogera wamu: n'abo bonna abaabatwala okuba abasibe babanywezezza; bagaanyi okubata.
34Omununuzi waabwe wa maanyi; Mukama w'eggye lye linnya lye: aliwoleza ddala ensonga yaabwe, alyoke awummuze ensi, era yeeraliikirize abo abali mu Babulooni.
35Ekitala kiri ku Bakaludaaya, bw'ayogera Mukama, ne ku abo abali mu Babulooni ne ku bakungu baamu ne ku bagezigezi baamu.
36Ekitala kiri ku abo abeenyumiriza, era balisiruwala: ekitala kiri ku basajja baamu ab'amaanyi, era balikeŋŋentererwa.
37Ekitala kiri ku mbalaasi zaabwe ne ku magaali gaabwe ne ku bantu bonna abaatabulwa abali wakati mu kyo, era balifuuka ng'abakazi; ekitala kiri ku bintu byamu eby'obugagga, era birinyagibwa.
38Ekyanda kiri ku mazzi gaamu, era galikalira: kubanga nsi ya bifaananyi byole, era balalukidde esanamu.
39Ensolo ez'omu nsiko ez'omu ddungu kyezinaavanga zibeera eyo ne bamaaya banaabeeranga omwo so tekiibeerwengamu nate ennaku zonna; so tekiituulwengamu emirembe n'emirembe.
40Nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo bw'ayogera Mukama; bwe kityo tewaabenga muntu anaatuulanga eyo, so tewaabenga mwana wa muntu anaabeeranga omwo.
41Laba, eggwanga liva obukiika obwa kkono; era ekika ekikulu, era bakabaka bangi abaliyimusibwa okuva ku njuyi z'ensi ezikomererayo.
42Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liwuuma ng'ennyanja era beebagala embalaasi; buli muntu ng'atala ng'omuntu bw'atalira olutalo, okulwana naawe, ai omuwala wa Babulooni.
43Kabaka w’e Babulooni awulidde ettutumo lyabwe emikono gye ne giddirira: obubalagaze bumukutte n'obulumi ng'omukazi alumwa okuzaala.
44Laba, alirinnya ng'empologoma eva ku malala ga Yoludaani, okulumba ekifo eky'amaanyi eky'okubeeramu naye ndikibaddusa mangu ago; eri buli alirondebwa, oyo gwe ndikuza ku kyo: kubanga ani afaanana nze era ani alinteekerawo ekiseera? era ani omusumba aliyimirira mu maaso gange?
45Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateeseza ku Babulooni; n'ebyo by'amaliridde eri ensi ey'Abakaludaaya: Tebalirema kubawalula okubaggyayo, abaana abato ab'omu kisibo; talirema kulekesaayo ekifo kyabwe eky'okubeeramu wamu nabo.
46Olw'eddoboozi ery'okumenya Babulooni ettaka likankana, n'okukaaba kuwuliddwa mu mawanga.