Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
30 verses
1Mudduke olw'okuwona, mmwe abaana ba Benyamini, muve wakati mu Yerusaalemi, mufuuyire ekkondeere e Tekowa, musimbe akabonero ku Besukakkeremu: kubanga obubi butunula nga buyima obukiika obwa kkono n'okuzikirira okunene.
2Oyo omulungi omwekanasi, omuwala wa Sayuuni, ndimuzikiriza.
3Abasumba balijja gy'ali nga balina ebisibo byabwe; balisimba eweema zaabwe okumwolekera enjuyi zonna; baliriira buli muntu mu kifo kye ye.
4Mwetegeke okulwana naye; muyimuke tulinnye mu ttuntu. Zitusanze! kubanga obudde bukka, kubanga ebisiikirize eby'akawungeezi byenudde.
5Muyimuke twambuke kiro, tuzikirize amayumba ge.
6Kubanga Mukama w'eggye ayogedde bw'ati nti Muteme emiti mutuume entuumo ku Yerusaalemi: ekibuga ekyo kye kigenda okubonerezebwa; kyonna kujooga kwereere wakati mu kyo.
7Ng'oluzzi bwe lukulukuta amazzi gaalwo, bwe kityo bwe kikulukuta obubi bwakyo: ekyejo n'okunyaga biwulirwa mu kyo; endwadde n'ebiwundu biba mu maaso gange bulijjo.
8Yiga ggwe Yerusaalemi, emmeeme yange ereme okwawukana naawe; nneme okukufuula amatongo, ensi omutali muntu.
9Bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye nti Baliyerera ddala abalisigala ku Isiraeri ng'omuzabbibu: zza nate omukono gwo ng'omunozi w'ezabbibu mu bibbo.
10Ani gwe mba njogera naye ne mba omujulirwa, balyoke bawulire? laba, okutu kwabwe si kukomole, so tebayinza kuwuliriza: laba, ekigambo kya Mukama kifuuse gye bali ekivume; tebakisanyukira n'akamu.
11Kyenvudde njijula ekiruyi kya Mukama; nkooye okuzibiikiriza: kiyiwe ku baana abato mu luguudo ne ku kkuŋŋaaniro ly'abavubuka wamu: kubanga ne bba wamu n'omukazi alikwatibwa, omukadde wamu n'oyo awezezza ennaku ennyingi.
12N'ennyumba zaabwe zirifuuka za balala, ennimiro zaabwe n'abakazi baabwe wamu: kubanga ndigolola omukono gwange ku abo abali mu nsi, bw'ayogera Mukama.
13Kubanga okuva ku muto mu bo okutuuka ku mukulu mu bo buli muntu wa mululu; era okuva ku nnabbi okutuuka ku kabona buli muntu alyazaamaanya.
14Era bawonyezza ekiwundu ky'abantu bange kungulu kwokka, nga boogera nti Mirembe, mirembe; so emirembe nga tewali.
15Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eby'emizizo? nedda, tebaakwatibwa nsonyi n'akatono, so tebaayinza kumyusa amaaso: kyebaliva bagwira mu abo abagwa: mu kiseera mwe ndibajjirira mwe balisuulirwa, bw'ayogera Mukama.
16Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Muyimirire mu makubo mulabe, mubuuze amakubo ag'edda, oluguudo olulungi gye luli, mutambulire omwo, kale mulirabira emmeeme zammwe ekiwummulo: naye ne boogera nti Tetuutambulire omwo.
17Ne mbateekako abakuumi ne boogera nti Muwulirize eddoboozi ly'ekkondeere; naye ne boogera nti Tetuuwulirize.
18Kale muwulire, mmwe amawanga, mumanye, mmwe ab'ekkuŋŋaaniro, ebiri mu bo.
19Wulira, ggwe ensi: laba, ndireeta akabi ku bantu bano, bye bibala by'ebirowoozo byabwe, kubanga tebawulidde bigambo byange; n'amateeka gange bagagaanyi.
20Omugavu oguva e Seeba gujjira ki gye ndi, n'emmuli ez'akaloosa eziva mu nsi ey'ewala? Bye muwaayo ebyokebwa tebikkirizika gye ndi, so ne ssaddaaka zammwe tebinsanyusa.
21Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nditeeka enkonge mu maaso g'abantu bano: ne bakitaabwe ne batabani baabwe wamu balizeesittalako; muliraanwa we ne mukwano gwe balizikirira.
22Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, waliwo eggwanga eriva mu nsi ey'obukiika obwa kkono, era eggwanga ekkulu liriyimuka okuva ku nkomerero z'ensi.
23Bakwata omutego n'effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liwuuma ng'ennyanja, era beebagala embalaasi; buli muntu ng'atala, ng'omusajja bw'atalira olutalo, okulwana naawe, ai omuwala wa Sayuuni.
24Tuwulidde ettutumu lyalyo; emikono gyaffe ne ginafuwala: obubalagaze butukutte n'okulumwa ng'omukazi alumwa okuzaala.
25Temufulumanga mu ttale, so temutambuliranga mu kkubo; kubanga eriyo ekitala eky'omulabe n'entiisa enjuyi zonna.
26Ai omuwala w'abantu bange, weesibe ebibukutu, weekulukuunye mu vvu: kungubaga ng'akungubagira mutabani we omu yekka, nga weesaasaabaga nnyo nnyini; kubanga omunyazi alitujjira nga tetumanyiridde.
27Nkufudde kigo era lukomera mu bantu bange; olyoke omanye okeme ekkubo lyabwe.
28Bonna bajeemu abatalabwa, nga batambula nga bawaayiriza; bikomo era byuma: bonna bakola eby'obukyamu.
29Emivubo gifuuwa n'amaanyi; omuliro gumalawo lisasi: beeyongerera bwereere okulongoosa; kubanga ababi tebasimbulibwawo.
30Masengere ga ffeeza, abantu bwe balibayita bwe batyo, kubanga Mukama abasudde.