Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
26 verses
1Yesu yayogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize:
2nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo.
3Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo.
4Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza.
5Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo.
6Njolesezza erinnya lyo abantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo.
7Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe:
8kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babiganya, ne bategeera mazima nga nnava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma.
9Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula bo be wampa; kubanga babo:
10era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo.
11Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe.
12Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire.
13Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.
14Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi.
15Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi.
16Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.
17Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima,
18Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi.
19Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima.
20So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe;
21bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma.
22Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu;
23nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze.
24Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa.
25Kitange Omutuukirivu ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma;
26era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.