Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
31 verses
1Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene n'ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n'alaba ng'ejjinja liggiddwa ku ntaana.
2Awo n'addukana, n'ajja eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti Baggyeemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde.
3Awo Peetero n'afuluma, n'omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana.
4Ne baddukana bombi wamu; n'omuyigirizwa oyo omulala n'ayisa Peetero, n'asooka okutuuka ku ntaana:
5n'akutama n'alingizaamu, n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo; naye n'atayingira.
6Awo ne Simooni Peetero n'ajja ng'amugoberera, n'ayingira mu ntaana; n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo.
7n'ekiremba ekyali ku mutwe gwe nga tekiteekeddwa wamu na ngoye z'ekitaani, naye nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali.
8Awo n'omuyigirizwa oyo omulala eyasooka okujja ku ntaana, n'ayingira, n'alaba n'akkiriza.
9Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti kimugwanira okuzuukira mu bafu.
10Awo nate abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.
11Naye Malyamu yali ayimiridde ebweru awaali entaana ng'akaaba: awo bwe yali ng'akaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana;
12n'alaba bamalayika babiri nga bambadde enjeru, nga batudde, omu emitwetwe omulala mirannamiro, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.
13Abo ne bamugamba nti Omukyala, okaabira ki? N'abagamba nti Kubanga baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde.
14Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'akyuka ennyuma, n'alaba Yesu ng'ayimiridde, n'atamanya nga ye Yesu.
15Yesu n'amugamba nti Omukyala, okaabira ki? onoonya ani? Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo.
16Yesu n'amugamba nti Malyamu. N'akyuka n'amugamba mu Lwebbulaniya nti Labooni; amakulu gaakyo Muyigiriza.
17Yesu n'amugamba nti Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.
18Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti Ndabye Mukama waffe; era bw'amugambye ebigambo bino.
19Awo ku lunaku luli akawugeezi, ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe.
20Awo bwe yamala okwogera bw'atyo, n'abalaga engalo ze n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe.
21Awo Yesu n'abagamba nate nti Emirembe gibe mu mmwe: nga Kitange bwe yantuma nze, nange bwe ntyo mbasindika mmwe.
22Bwe yamala okwogera ekyo, n'abassiza omukka, n'abagamba nti Mutoole Omwoyo Omutukuvu:
23be munaggyangako ebibi bonna, baggibwako; be munaasibiranga ebibi bonna, basibirwa.
24Naye Tomasi omu ku kkumi n'ababiri, eyayitibwanga Didumo, teyali nabo Yesu bwe yajja.
25Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti Tulabye Mukama waffe. Naye n'abagamba nti Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z'enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z'enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n'akatono.
26Oluvannyuma nga wayiseewo ennaku munaana, ate abayigirizwa be baali munda, ne Tomasi ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga ziggaddwawo, n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti Emirembe gibe mu mmwe.
27Awo n'agamba Tomasi nti Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n'omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza naye akkiriza.
28Tomasi n'addamu n'amugamba nti Ggwe Mukama wange, era Katonda wange.
29Yesu n'amugamba nti Kubanga ondabye, kyovudde okkiriza; balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.
30Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g'abayigirizwa, obutawandiikiddwa mu kitabo kino;
31naye buno bwawandiikibwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwe mukkiriza mube n'obulamu mu linnya lye.