Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
10 verses
1Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yona omulundi ogw'okubiri, nga kyogera nti
2Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okibuulirire okubuulira kwe nkugamba.
3Awo Yona n'agolokoka n'agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini olugendo lwa nnaku ssatu okukibunya.
4Yona n'asooka okuyingira mu kibuga n'atambula olugendo lwa lunaku lumu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Ennaku amakumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira.
5Abantu ab'omu Nineeve ne bakkiriza Katonda ne balangirira okusiiba ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto.
6Ebigambo ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, n'agolokoka ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye ne yeebikkako ebibukutu n'atuula mu vvu.
7N'alangirira n'abuulira okubunya Nineeve olw'etteeka lya kabaka n'abakungu be, n'agamba nti Omuntu n'ensolo, eggana n'ekisibo, bireme okulega ku kintu; bireme okulyako n'okunywa amazzi;
8naye babikkibwe ebibukutu, omuntu era n'ensolo, bakaabirire nnyo nnyini Katonda; era bikyuke, buli kintu mu kkubo lyakyo ebbi ne mu kyejo ekiri mu mikono gyabyo.
9Ani amanyi nga Katonda alikyuka alyejjusa, n'akyuka okuleka obusungu bwe obukambwe tuleme okuzikirira?
10Katonda n'alaba emirimu gyabwe nga bakyuse mu kkubo lyabwe ebbi; Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n'atabubakola.