Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
16 verses
1Awo ennaku nnyingi bwe zaayita Mukama bwe yawummuza Abaisiraeri mu balabe baabwe bonna abaabeetooloola, era Yoswa ng'akaddiye ng'amaze emyaka mingi;
2Yoswa n'alyoka abayita Abaisiraeri bonna, abakadde baabwe n'emitwe gyabwe, n'abalamuzi baabwe n'abaami baabwe, n'abagamba nti Nze nkaddiye, mmaze emyaka mingi:
3nammwe mwalaba byonna Mukama Katonda wammwe bye yabakolera ku mawanga gano gonna ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye yabalwanira.
4Laba, mbagabidde amawanga gano agasigalawo, okuba obusika obw'ebika byammwe, okuva ku Yoludaani, awamu n'amawanga gonna ge nnazikiriza, okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba.
5Ne Mukama Katonda wammwe ye alibasindika emberi yammwe n'abagoba mu maaso gammwe; nammwe mulirya ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba.
6Kale mugume nnyo emyoyo okwekuumanga n'okukolanga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, muleme okugakyamirangamu ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono;
7muleme okuyingiranga mu mawanga gano, agaasigala mu mmwe; newakubadde okwogeranga, ku linnya lya bakatonda baabwe, newakubadde okubalayizanga, newakubadde okubaweerezanga, newakubadde okubafukaamiriranga:
8naye mwegattenga ne Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakolanga okutuusa leero:
9Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag'amaanyi: naye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa leero.
10Munnammwe omu anaagobanga lukumi: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira, nga bwe yabagamba.
11Kale mwekuumenga mwekka mwagalenga Mukama Katonda wammwe.
12Naye oba nga munaddanga ennyuma n'akatono, ne mwegattanga n'amawanga gano agaasigalawo, ge gaagano agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwanga nabo, ne muyingiranga gye bali, nabo (ne bayingiranga) gye muli:
13mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n'ekyambika gye muli n'oluga ku mbiriizi zammwe n'amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.
14Era, laba, leero ŋŋenda olugendo ebintu byonna gye bigenda: nammwe mumanyi mu mitima gya mmwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonna bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.
15Awo olulituuka, ng'ebirungi byonna bwe byabajjira Mukama Katonda wammwe bye yabagamba, bw'atyo Mukama anaabaleeteranga ebibi byonna, okutuuka lw'alibazikiriza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.
16Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa.