Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Abasajja ba Efulayimu ne bakuŋŋaana ne bayita okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; ne bagamba Yefusa nti Kiki ekyakusomosa okugenda okulwana n'abaana ba Amoni, n'ototuyita ffe okugenda naawe? tulikwokerera ennyumba yo omuliro.
2Yefusa n'abagamba nti Nze n'abantu bange twali tulwana nnyo n'abaana ba Amoni; awo bwe nnabayita ne mutandokola mu mukono gwabwe.
3Awo bwe nnalaba nga temundokodde, obulamu bwange ne mbuteeka mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n'abaana ba Amoni, Mukama n'abagabula mu mukono gwange: kale, kiki ekibalinnyisa leero gye ndi okulwana nange?
4Awo Yefusa n'alyoka akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gireyaadi n'alwana ne Efulayimu: abasajja ab'e Gireyaadi ne bakuba Efulayimu, kubanga baayogera nti Muli badduse ba Efulayimu mmwe ab'e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu (ne) wakati mu Manase.
5Ab'e Gireyaadi ne beekwata emisomoko gya Yoludaani okuteega Abaefulayimu: awo olwatuuka (omuntu yenna) ku badduse ba Efulayimu bwe yayogera nti Nsomoke, ab'e Gireyaadi ne bamugamba nti Oli Mwefulayimu? Bwe yayogera nti Nedda;
6ne balyoka bamugamba nti Kale nno yogera Shibbolesi; n'ayogera nti Sibbolesi; kubanga teyayinza kukiruŋŋamya kukituusa bulungi; ne balyoka bamukwata, ne bamuttira ku misomoko gya Yoludaani; ne bafa ku Efulayimu mu biro ebyo obukumi buna mu enkumi bbiri.
7Yefusa n'alamulira Isiraeri emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n'alyoka afa, ne bamuziika mu kibuga kimu ku by'omu Gireyaadi.
8Awo oluvannyuma lwe Ibuzaani ow'e Besirekemu n'alamula Isiraeri.
9Era yalina batabani be asatu, era yasindika abawala be asatu okugenda mu nsi endala, n'aggya abawala asatu mu nsi endala n'abawasiza batabani be. N'alamulira Isiraeri emyaka musanvu.
10Ibuzaani n'afa, ne bamuziika mu Besirekemu.
11Awo oluvannyuma lwe Eroni Omuzebbulooni n'alamula Isiraeri; n'alamulira Isiraeri emyaka kkumi.
12Eroni Omuzebbulooni n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.
13Awo oluvannyuma lwe Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'alamula Isiraeri.
14Era yalina batabani be ana n'abazzukulu be asatu, abeebagalanga ku baana b'endogoyi nsanvu: n'alamulira Isiraeri emyaka munaana.
15Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'afa, ne bamuziika mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey'Abamaleki ey'ensozi.