Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
25 verses
1Era abasajja ba Isiraeri baali balayidde mu Mizupa nga boogera nti Tewabanga ku ffe alimuwa Benyamini omuwala we okumuwasa.
2Abantu ne bajja e Beseri, ne batuula eyo okutuusa akawungeezi mu maaso ga Katonda, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba nnyo amaziga.
3Ne boogera nti Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, kiki ekireese kino mu Isiraeri, leero ekika kimu okubula mu Isiraeri?
4Awo olwatuuka enkya abantu ne bagolokoka mu makya, ne bazimba eyo ekyoto, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.
5Abaana ba Isiraeri ne boogera nti Aluwa mu bika byonna ebya Isiraeri atayambuka eri ekkuŋŋaaniro eri Mukama? Kubanga baali balayidde ekirayiro ekikulu ku oyo atayambuka eri Mukama e Mizupa nga boogera nti Talirema kuttibwa:
6Abaana ba Isiraeri ne bejjusa olwa Benyamini muganda waabwe ne boogera nti Waliwo ekika kimu leero ekyazikirizibwa mu Isiraeri.
7Tulibalabira tutya abakazi abo abasigaddewo, kubanga twalayira Mukama obutabawanga ku bawala baffe okubawasa?
8Ne boogera nti Kika ki ku bika bya Isiraeri ekitayambuka eri Mukama e Mizupa? Era, laba, mu Yabesugireyaadi temwava muntu okugenda mu lusiisira eri ekkuŋŋaaniro.
9Kubanga abantu bwe baabalibwa, laba, nga tewaliiwo ku abo abaatuula mu Yabesugireyaadi.
10Ekibiina ne kitumayo abasajja kakumi mu enkumi bbiri ku abo abasinga obuzira, ne babalagira nga boogera nti Mugende mutte n'obwogi bw'ekitala abatuula mu Yabesugireyaadi, wamu n'abakazi n'abaana abato.
11Na kino kye kigambo kye munaakola; munaazikiririza ddala buli musajja na buli mukazi eyali asuze n'omusajja.
12Ne balaba mu abo abatuula mu Yabesugireyaadi abawala abato bina; abatamanyanga musajja okusula naye: ne babaleeta mu lusiisira e Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani.
13Awo ekibiina kyonna ne batuma ne boogera n'abaana ba Benyamini abaali mu jjinja lya Limoni, ne babalangira emirembe.
14Awo Benyamini n'akomawo mu biro ebyo; ne babawa abakazi be baali bawonyezza okubatta ku bakazi ab'e Yabesugireyaadi: era naye ne batabamala bwe batyo.
15Abantu ne bejjusa olwa Benyamini, kubanga Mukama yali awagudde ekituli mu bika bya Isiraeri:
16Awo abakadde b'ekibiina ne boogera nti Tulirabira tutya abakazi abo abasigaddewo; kubanga abakazi bazikirizibbwa mu Benyamini?
17Ne boogera nti Kigwana okubaawo obusika eri abo abaawona ku Benyamini, ekika kireme okusangulibwa mu Isiraeri.
18Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe okubawasa: kubanga abaana ba Isiraeri baali balayidde nga boogera nti Akolimirwe oyo awa Benyamini omukazi okuwasa.
19Ne boogera nti Laba, waliwo embaga ya Mukama buli mwaka mu Siiro, ekiri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Beseri, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'oluguudo oluva e Beseri olwambuka e Sekemu; ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Lebona.
20Awo ne balagira abaana ba Benyamini nga boogera nti Mugende muteegere mu nsuku z'emizabbibu;
21mutunule, era, laba, abawala ab'e Siiro bwe balifuluma okuzina mu mizannyo gyaffe, ne mulyoka muva mu nsuku, mukwate buli muntu mukazi we ku bawala ab'e Siiro, mugende mu nsi ya Benyamini.
22Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okutuwoleza, ne tubagamba nti Mubatuwe lwa kisa: kubanga tetwabanyagira buli muntu mukazi we mu ntalo: so temwababawa; kaakano mwandizzizza omusango.
23Awo abaana ba Benyamini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi ku abo abaazina, ng'omuwendo gwabwe bwe gwali abo be baanyaga: ne baddayo mu busika bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne batuula omwo.
24Awo abaana ba Isiraeri ne bavaayo mu biro ebyo, buli muntu eri ekika kye n'eri ennyumba ye, ne bavaayo ne bagenda buli muntu mu busika bwe.
25Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: buli muntu yakolanga ekyabanga mu maaso ge ye ekirungi.