Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
24 verses
1Mukama n'agamba Musa nti Yogera ne bakabona batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu eyeeyonoona olw'abo abaafa ku bantu be;
2wabula olwa baganda be, abamuli okumpi mu luganda, nnyina ne kitaawe ne mutabani we ne muwala we ne muganda we;
3n'olwa mwannyina atamanyanga musajja, amuli okumpi mu luganda, atalina bba, olw'oyo ayinza okweyonoona.
4Tayonoonanga, bw'aba omukulu mu bantu be, okwevumisa.
5Tebamwanga kiwalaata ku mutwe gwabwe, so tebamwanga nsonda za kirevu kyabwe, so tebeesalanga n'akatono ku mubiri gwabwe.
6Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe: kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe: kyebanaavanga babeera abatukuvu.
7Tebawasanga mukazi mwenzi, oba aliko empitambi; so tebawasanga mukazi eyagobebwa bba: kubanga mutukuvu eri Katonda we.
8Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo: anaabanga mutukuvu gy'oli: kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu.
9Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe: anaayokebwaaga omuliro.
10N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu mu baganda be, afukibwako ku mutwe amafuta agafukibwako, era ayawulibwa okwambala ebyambalo ebyo, tasumululanga nviiri za ku mutwe gwe, so tayuzanga ngoye ze;
11so tayingiranga eri omulambo gwonna, so teyeeyonoonanga olwa kitaawe, newakubadde olwa nnyina;
12so tafulumanga mu watukuvu, so tavumisanga watukuvu wa Katonda we; kubanga engule ey'amafuta agafukibwako aga Katonda wegali ku ye: nze Mukama.
13Era anaawasanga omukazi nga tannamanya musajja.
14Nnamwandu oba eyagobebwa oba aliko empitambi, omwenzi, abo tabawasanga: naye omuwala atamanyanga musajja ow'oku bantu be gw'anaawasanga.
15So tavumisanga zzadde lye mu bantu be: kubanga nze ndi Mukama amutukuza.
16Mukama n’agamba Musa nti
17Gamba Alooni nti Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna anaabangako obulema, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.
18Kubanga buli muntu yenna anaabangako obulema tasemberanga: omuzibe w'amaaso oba awenyera oba eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekisukkirira,
19oba eyamenyeka okugulu, oba eyamenyeka omukono,
20oba alina ebbango, oba mututuuli, oba aliko obulema ku liiso lye, oba alina obuwere, oba mubootongo, oba eyayatika enjagi;
21tewabangawo muntu wa ku zzadde lya Alooni kabona, aliko obulema, anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: ng'aliko obulema; tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.
22Anaalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, era ne ku mutukuvu.
23Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama atukuzaawo.
24Awo Musa n'agamba Alooni bw'atyo ne batabani be n'abaana bonna aba Isiraeri.