Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
23 verses
1Mukama n'agamba Musa nti
2Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amalungi aga zeyituuni amakube olw'ettabaaza, okwasanga ettabaaza olutata.
3Ebweru w'eggigi ery'obujulirwa, mu weema ey'okusisinkanirangamu, Alooni w'anaagirongooserezanga okusooka akawungeezi okutuusa enkya mu maaso ga Mukama olutata: linaabanga tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
4Ettabaaza anaazirongooserezanga ku kikondo ekirongoofu mu maaso ga Mukama olutata.
5Era onoddiranga obutta obulungi, n'oggyamu emigaati kkumi n'ebiri emyokye: ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa binaabanga mu mugaati gumu.
6Era onoogitegekanga embu bbiri, buli lubu mukaaga, ku mmeeza ennongoofu mu maaso ga Mukama.
7Era onooteekanga omugavu omulongoofu ku buli lubu, gubeerenga ekijjukizo eri emigaati, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
8Buli ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri.
9Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu: kubanga mitukuvu nnyo gyali ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.
10Awo mutabani w'omukazi Omuisiraeri, kitaawe Mumisiri, n'afuluma n'agenda mu baana ba Isiraeri: mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'omusajja wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira;
11mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'avvoola Erinnya n'akolima; ne bamuleetera Musa. Ne nnyina erinnya lye Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Ddaani.
12Ne bamusiba belyoke babuulirwe mu kamwa ka Mukama.
13Mukama n'agamba Musa nti
14Oyo akolimye mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja.
15Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaakolimiranga Katonda we anaabangako ekibi kye.
16N'oyo anavvoolanga erinnya lya Mukama talemanga kuttibwa; ekibiina kyonna tekiremanga kumukuba mayinja: omugenyi naye era n'enzaalwa, bw'anavvoolanga erinnya lya Mukama, anattibwanga.
17N'oyo anaakubanga omuntu yenna n'amutta talemanga kuttibwa;
18n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga: obulamu olw'obulamu.
19Era omuntu bw'anaalemazanga muliraanwa we; nga bw'akoze, bw'anaakolebwanga bw'atyo;
20ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo: nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo.
21N'oyo anattanga ensolo anaagiriwanga: n'oyo anattanga omuntu anattibwanga.
22Munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'enzaalwa: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
23Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira; ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.