Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
6 verses
1Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amaala bonna n'abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku olujja lulibookera ddala, bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.
2Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo.
3Era mulirinnyirira ababi; kubanga baliba vvu wansi w'ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw'ayogera Mukama w'eggye.
4Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, ge nnamulagiririra ku Kolebu olwa Isiraeri yenna, ebiragiro n'emisango.
5Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka.
6Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n'omutima gw'abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n'ekikolimo.