Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
72 verses
1Awo bwe waali wakyabulayo ennaku bbiri, embaga y'Okuyitako n'emigaati egitazimbulukuswa etuuke: bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamukwata mu lukwe n'okumutta:
2kubanga baagamba nti Si ku lunaku lwa mbaga, mpozzi waleme okubaawo akeegugungo mu bantu.
3Awo bwe yali mu Bessaniya mu nnyumba ya Simooni omugenge, ng'atudde ku mmere, omukazi eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ogw'omuwendo omungi ennyo n'ajja, n'ayasa eccupa, amafuta n'agafuka ku mutwe gwe.
4Naye waaliwo mu bo abamu abaasunguwala nga bagamba nti Amafuta gafudde ki bwe gatyo?
5Kubanga amafuta gano bandiyinzizza okugatundamu eddinaali ebikumi bisatu n'okusingawo n'okugabira abaavu. Ne bamwemulugunyiza.
6Naye Yesu n'agamba nti Mumuleke; mumunakuwaliza ki? ankoledde ekikolwa ekirungi.
7Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; na buli lwe mwagala muyinza okubakola obulungi: naye nze temuli nange bulijjo.
8Akoze nga bw'ayinzizza: asoose okufuka amafuta ku mubiri gwange nga bukyali okunziika.
9Mazima mbagamba nti Enjiri buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.
10Awo Yuda Isukalyoti, eyali omu ku kkumi n'ababiri, n'agenda eri bakabona abakulu; okumuwaayo gye bali:
11Awo bwe baawulira, ne basanyuka, ne basuubiza okumuwa effeeza. N'asala amagezi bw'anaalaba ebbanga okumuwaayo.
12Awo ku lunaku olwasooka olw'emigaati egitazimbulukuswa lwe batta Okuyitako, abayigirizwa be ne bamugamba nti Oyagala tugende wa tutegeke gy'onooliira Okuyitako?
13N'atuma ab'oku bayigirizwa be babiri, n'abagamba nti Mugende mu kibuga, anaasisinkana nammwe omusajja nga yeetisse ensuwa y'amazzi: mumugoberere;
14yonna yonna mw'anaayingira mugambe nnannyini nnyumba nti Omuyigiriza agambye nti Ennyumba eri ludda wa mwe nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange?
15Anaabalaga ye yennyini ennyumba ennene eya waggulu eyaliiriddwa etegekeddwa: mututegekere omwo.
16Awo abayigirizwa ne bagenda ne bajja ku kibuga, ne balaba nga bwe yabagambye: ne bategeka Okuyitako.
17Awo bwe bwawungeera n'ajja n'ekkumi n'ababiri.
18Awo bwe baali batudde ku mmere, Yesu n'agamba nti Mazima mbagamba nti Omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe;
19ne batanula okunakuwala n'okumugamba kinnoomu nti Ye nze?
20N'abagamba nti Omu ku kkumi n'ababiri akoza nange mu kibya ye wuuyo.
21Kubanga Omwana w'omuntu agenda nga bwe kyamuwandiikwako: naye zirimusanga omuntu oyo alyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo.
22Awo bwe baali balya, n'atoola omugaati, awo bwe yamala okwebaza n'agumenyamu, n'abawa, n'agamba nti Mutoole; guno gwe mubiri gwange.
23N'addira ekikompe, awo bwe yamala okweyanza, n'abawa; ne bakinywako bonna.
24N'abagamba nti Guno gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika olw'abangi.
25Mazima mbagamba nti Sirinywa nate ku bibala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya mu bwakabaka bwa Katonda.
26Awo bwe baamala okuyimba oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
27Awo Yesu n'abagamba nti Muneesittala mwenna: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga zirisaasaana.
28Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda mu Ggaliraaya.
29Naye Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga bonna baneesittala, naye si nze.
30Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti ggwe leero, ekiro kino, enkoko eneeba tennakookolima emirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu.
31Naye ne yeeyongera nnyo okwogera nti Newakubadde nga kiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. Era bonna ne bagamba bwe batyo.
32Awo ne bajja mu kifo erinnya lyakyo Gesusemane: n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano mmale okusaba.
33N'atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana wamu naye, n'atanula okuwuniikirira n'okweraliikirira ennyo.
34N'abagamba nti Emmeeme yange eriko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule.
35N'atambulako katono, n'avuunama n'asaba, oba nga kiyinzika, ekiseera kimuyiteko.
36N'agamba nti Aba, Kitange, byonna biyinzika gy'oli; nziyaako ekikompe kino; naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.
37Awo n'ajja, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Simooni, weebase? tobadde na maanyi ag'okutunula n'essaawa emu eti?
38Mutunule, musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala, naye omubiri gwe munafu.
39Nate n'addayo, n'asaba, n'ayogera ebigambo bimu na biri.
40N'akomawo nate, n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga nnyo; so tebaamanya bwe banaamuddamu.
41N'ajja omulundi ogw'okusatu, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: kinaamala; ekiseera kituuse; laba, Omwana w'omuntu aweebwayo mu mikono gy'abalina ebibi.
42Muyimuke, tugende; laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.
43Awo amangu ago, bwe yali akyayogera, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja n'ekibiina wamu naye abaalina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu, n'abawandiisi n'abakadde.
44Era oyo eyamulyamu olukwe yali abawadde akabonero ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo; mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.
45Awo bwe yatuuka, amangu ago n'ajja gy'ali n'agamba nti Labbi; n'amunywegera nnyo.
46Ne bamussaako emikono gyabwe, ne bamukwata.
47Naye omu ku abo abaali bayimiridde awo n'asowola ekitala, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu.
48Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Munjijiridde nga bwe mujjira omunyazi; n'ebitala n'emiggo okunkwata?
49Buli lunaku nnabeeranga nammwe mu yeekaalu nga njigiriza, nga temwankwata: naye kino kikoleddwa, ebyawandiikibwa bituukirire.
50Awo bonna ne bamwabulira ne badduka.
51Awo omulenzi omu n'amugoberera, eyali yeebikkiridde olugoye olw'ekitaani lwokka ku mubiri: ne bamukwata;
52naye n'abalekera olugoye olw'ekitaani, n'adduka bwereere.
53Awo ne batwala Yesu eri kabona asinga obukulu: ne bamukuŋŋaanirako bakabona abakulu bonna n'abakadde n'abawandiisi.
54Awo Peetero n'amugoberera wala, okutuuka munda mu luggya lwa kabona asinga obukulu; yali atudde n'abaweereza ng'ayota omuliro.
55Awo bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonyeza Yesu abajulirwa ab'okumussa, so ne batabalaba:
56Kubanga abaamuwaayiriza eby'obulimba bangi, so n'okuwaayiriza kwabwe tekwali kumu.
57Awo abamu ne bayimuka ne bamuwaayiriza, nga bagamba nti
58Ffe twamuwulira ng'agamba nti Ndimenya yeekaalu eno eyakolebwa n'emikono, ne mu nnaku ssatu ndizimba endala etalikolebwa na mikono.
59So n'okuwaayiriza kwabwe okwo nakwo tekwali kumu.
60Awo kabona asinga obukulu n'ayimirira wakati, n'abuuza Yesu, ng'agamba nti Ggwe toyanukula n'akatono? kiki kye bakulumiriza bano?
61Naye n'asirika busirisi, n'atayanukula n'akatono. Nate kabona asinga obukulu n'amugamba nti Ggwe Kristo, Omwana w'oyo eyeebazibwa?
62Yesu n'agamba nti Nze nzuuno; nammwe muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajja n'ebire eby'eggulu.
63Awo kabona asinga obukulu n'ayuza engoye ze, n'agamba nti Twetaagira ki nate abajulirwa?
64Muwulidde obuvvoozi bwe: mulowooza mutya? Bonna ne bamusalira omusango ng'asaanira okufa.
65Awo abamu ne batanula okumuwandira amalusu, n'okumubikka mu maaso, n'okumukuba ebikonde n'okumugamba nti Lagula: abaweereza ne bamutwala nga bamukuba empi.
66Awo Peetero bwe yali wansi mu luggya, omu ku bazaana ba kabona asinga obukulu n'ajja;
67awo bwe yalaba Peetero ng'ayota omuliro, n'amutunuulira, n'agamba nti Naawe wali n'Omunazaaleesi, Yesu.
68Naye ye ne yeegaana ng'agamba nti Simanyi, so sitegeera ky'oyogera: n'agenda ebweru mu kisasi; enkoko n'ekookolima.
69Awo omuzaana n'amulaba, n'atanula nate okubagamba abaali bayimiridde awo nti Ono w'ewaabwe.
70Naye ne yeegaana nate. Awo bwe waayitawo ekiseera kitono, abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nate nti Mazima oli w'ewaabwe; kubanga oli Mugaliraaya.
71Naye n'atanula okukolima n'okulayira nti Simanyi muntu ono, gwe mwogerako.
72Amangu ago enkoko n'ekookolima omulundi ogw'okubiri. Awo Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu bwe yamugambye nti Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, ononneegaana emirundi esatu. Kale bwe yalowooza, n'akaaba amaziga.