Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
46 verses
1Yesu n'addamu n'ayogera nabo nate mu ngero, ng'agamba nti
2Obwakabaka obw'omu ggulu bufaananyizibwa omuntu eyali kabaka, eyamufumbira omwana we embaga ey'obugole,
3n'atuma abaddu be okuyita abaayitirwa embaga ey'obugole: ne batayagala kujja.
4N'atuma nate abaddu abalala, ng'agamba nti Mubuulire abantu abaayitibwa nti Laba, nfumbye embaga yange; ente zange n'eza ssava zittiddwa, ne byonna byeteeseteese: mujje ku mbaga ey'obugole.
5Naye bo ne batassaayo mwoyo ne bagenda, omulala mu kyalo kye, omulala mu buguzi bwe:
6abaasigalawo ne bakwata abaddu be, ne babagirira ekyejo, ne babatta.
7Kabaka n'akwatibwa obusungu; n'agaba eggye lye, n'azikiriza abassi abo, n'ayokya ekibuga kyabwe.
8Awo n'agamba abaddu be nti Obugole bweteeseteese, naye abo abaayitibwa tebasaanira.
9Kale mugende mu masaŋŋanzira g'enguudo, bonna be munaalabayo mubayite ku mbaga ey'obugole:
10Abaddu bali ne bagenda mu nguudo, ne bakuŋŋaanya bonna be baalaba, ababi n'abalungi: obugole ne bujjula abagenyi.
11Naye kabaka bwe yayingira okulaba abagenyi, n'alabamu omuntu atayambadde kyambalo kya bugole:
12n'amugamba nti Munnange, oyingidde otya wano nga tolina kyambalo kya bugole? n'abunira.
13Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti Mumusibe emikono n'amagulu, mumusuule mu kizikiza eky'ebweru; mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.
14Kubanga bangi abayitibwa, naye abalondemu batono.
15Awo Abafalisaayo ne bagenda, ne bateesa wamu bwe banaamutega mu bigambo.
16Ne bamutumira abayigirizwa baabwe, wamu n'Abakerodiyaani, ne bagamba nti Omuyigiriza, tumanyi ng'oli wa mazima, era ng'oyigiriza mu mazima ekkubo lya Katonda, so ebigambo by'omuntu yenna tobissaako mwoyo: kubanga tososola mu bantu.
17Kale tubuulire, olowooza otya? Kirungi okuwa Kayisaali omusolo, oba si weewaawo?
18Naye Yesu n'ategeera obubi bwabwe, n'agamba nti Munkemera ki, mmwe bannanfuusi?
19Munjoleke effeeza ey'omusolo. Ne bamuleetera eddinaali.
20N'abagamba nti Ekifaananyi kino n'obuwandiikeko by'ani?
21Ne bamugamba nti Bya Kayisaali. Awo n'abagamba nti Kale musasule Kayisaali ebya Kayisaali; ne Katonda ebya Katonda.
22Bwe baawulira, ne beewuunya, ne bamuleka, ne bagenda.
23Ku lunaku olwo ne bajja gy'ali Abasaddukaayo, abagamba nti tewali kuzuukira: ne bamubuuza,
24nga bagamba nti Omuyigiriza, Musa yagamba nti Omuntu bw'afanga, nga talina baana, muganda we addengawo awase mukazi we, azaalire muganda we ezzadde.
25Awo ewaffe yaliyo ab'oluganda musanvu: ow'olubereberye n'awasa n'afa, naye nga bw'ataalina zzadde n'alekera muganda we mukazi we;
26bw'atyo n'ow'okubiri, n'ow'okusatu, okutuusa bonna omusanvu.
27Oluvannyuma, bonna nga baweddewo, omukazi n'afa.
28Kale mu kuzuukira aliba muka ani ku abo omusanvu? kubanga bonna baabuna okumufumbirwa.
29Naye Yesu n'addamu n'abagamba nti Mukyama olw'obutamanya ebyawandiikibwa, newakubadde amaanyi ga Katonda.
30Kubanga mu kuzuukira tebawasa, so tebafumbirwa, naye bali nga bamalayika mu ggulu.
31Naye eby'okuzuukira kw'abafu, temwasoma Katonda kye yabagamba nti
32Nze ndi Katonda wa Ibulaimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo? Si Katonda wa bafu, naye wa balamu.
33Ebibiina bwe byawulira ne byewuunya okuyigiriza kwe.
34Naye Abafalisaayo bwe baawulira nti abunizza Abasaddukaayo, ne bakuŋŋaanira wamu.
35Omu ku bo, ow'amateeka, n'amubuuza ng'amukema nti
36Omuyigiriza ekiragiro ekikulu mu mateeka kiruwa?
37Naye n'amugamba nti Yagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'obulamu bwo bwonna, n'amagezi go gonna.
38Kino kye kiragiro ekikulu eky'olubereberye.
39N'eky'okubiri ekikifaanana kye kino nti Yagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.
40Mu biragiro bino byombi amateeka gonna mwe gasinziira, era ne bannabbi.
41Abafalisaayo bwe baakuŋŋaana, Yesu n'ababuuza,
42ng'agamba nti Kristo mumulowooza mutya? ye mwana w'ani? Ne bamugamba nti Wa Dawudi.
43N'abagamba nti Kale, Dawudi mu Mwoyo kiki ekimuyisa Mukama we, ng'agamba nti
44Mukama yagamba Mukama wange nti Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, Okutuusa lwe ndissa abalabe bo wansi w'ebigere byo?
45Kale oba nga Dawudi amuyita Mukama we, ali atya omwana we?
46Ne wataba muntu eyayinza okumuddamu ekigambo, era okuva ku lunaku olwo tewali muntu eyayaŋŋanga okumubuuza ekigambo nate.