Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
51 verses
1Yesu n'afuluma mu yeekaalu; yali ng'atambula, abayigirizwa be ne bajja okumulaga amazimba ga yeekaalu:
2Naye n'addamu n'abagamba nti Temulaba bino byonna? mazima mbagamba nti Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja eritalisuulibwa wansi.
3Bwe yali atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa ne bajja gy'ali kyama, ne bagamba nti Tubuulire bino we biribeererawo n'akabonero ak'okujja kwo bwe kaliba, n'ak'emirembe gino okuggwaawo?
4Yesu n'addamu n'abagamba nti Mulabe omuntu yenna tabakyamyanga.
5Kubanga bangi abalijja mu linnya lyange, nga bagamba nti Nze Kristo; balikyamya bangi.
6Muliwulira entalo n'ettutumu ly'entalo: mulabe temweraliikiriranga: kubanga tebirirema kubaawo; naye enkomerero ng'ekyali.
7Kubanga eggwanga liritabaala eggwanga ne kabaka alitabaala kabaka: walibaawo enjala n'ebikankano mu bifo ebitali bimu.
8Naye ebyo byonna lwe lubereberye lw'okulumwa.
9Lwe balibawaayo mmwe mubonyebonyezebwe, balibatta: nammwe mulikyayibwa amawanga gonna okubalanga erinnya lyange.
10Mu biro ebyo bangi abalyesittala, baliwaŋŋanayo, balikyawagana.
11Ne bannabbi bangi ab'obulimba balijja, balikyamya bangi.
12Era kubanga obujeemu buliyinga obungi, okwagala kw'abasinga obungi kuliwola.
13Naye agumiikiriza okutuuka ku nkomerero, ye alirokolebwa.
14N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n'eryoka ejja.
15Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekizikiriza, Danyeri nnabbi kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, (asomamu ategeere),
16kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi:
17ali waggulu ku nju takkanga kuggyamu bintu ebiri mu nju ye:
18ali mu lusuku taddanga nate kutwala kyambalo kye.
19Naye ziribasanga abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo!
20Nammwe musabe ekidduko kyammwe kireme okuba mu biro eby'empewo, newakubadde ku ssabbiiti:
21kubanga mu biro ebyo waliba ekibonyoobonyo ekinene, nga tekibangawo kasookedde ensi ebaawo okutuusa leero, era tekiribaawo nate.
22Ennaku ezo singa tezaasalibwako, tewandirokose buli alina omubiri: naye olw'abalonde ennaku ezo zirisalibwako.
23Mu biro ebyo omuntu bw'abagambanga nti Laba, Kristo ali wano, oba nti Wano; temukkirizanga.
24Kubanga walijja bakristo ab'obulimba, ne bannabbi ab'obulimba, n'abo balikola obubonero obukulu n'eby'amagero; n'okukyamya bakyamye n'abalonde, oba nga kiyinzika.
25Laba, mbalabudde.
26Kale bwe babagambanga nti Laba, ali mu ddungu; temufulumanga: laba, ali mu bisenge munda; temukkirizanga.
27Kubanga ng'okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.
28Awaba omulambo wonna, awo ensega we zikuŋŋaanira.
29Naye amangu ago, oluvannyuma lw'ekibonyoobonyo eky'omu nnaku ezo enjuba erifuuka ekizikiza, n'omwezi tegulyolesa musana gwagwo, n'emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu, n'amaanyi ag'omu ggulu galinyeenyezebwa:
30awo lwe kalirabika akabonero ak'Omwana w'omuntu mu ggulu: n'ebika byonna eby'ensi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w'omuntu ng'ajja ku bire eby'eggulu n'amaanyi n'ekitiibwa ekinene.
31Era alituma bamalayika be n'eddoboozi ddene ery'ekkondeere, nabo balikuŋŋaanya abalonde be mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y'eggulu n'okutuusa ku nkomerero yaalyo.
32Era muyigire ku mutiini olugero lwagwo: ettabi lyagwo bwe ligejja, amalagala ne gatojjera, mutegeera ng'omwaka guli kumpi;
33bwe mutyo nammwe, bwe mulaba ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ku luggi.
34Mazima mbagamba nti Emirembe gino tegiriggwaawo, okutuusa ebyo byonna lwe birikolebwa.
35Eggulu n'ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala.
36Naye eby'olunaku luli n'ekiseera tewali abimanyi, newakubadde bamalayika ab'omu ggulu, newakubadde Omwana, wabula Kitange yekka.
37Naye ng'ennaku za Nuuwa bwe zaali, bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.
38Kuba nga bwe baali ku nnaku ezo ezaasooka amataba nga balya nga banywa, nga bawasa nga bawayiza, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato,
39ne batamanya okutuusa amataba lwe gajja, ne gabatwala bonna; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw'Omwana w'omuntu.
40Mu biro ebyo abasajja babiri baliba mu kyalo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa:
41abakazi babiri baliba nga basa ku lubengo; omu alitwalibwa, n'omulala alirekebwa.
42Kale mutunule; kubanga temumanyi lunaku bwe luli Mukama wammwe lw'ajjirako.
43Naye kino mukitegeere nti Alina enju ye singa yamanya ekisisimuka bwe kiri omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.
44Mukale nammwe mweteeketeeke: kubanga mu kiseera kye mutalowoolezaamu Omwana w'omuntu ky'ajjiramu.
45Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa ow'amagezi, mukama we gwe yasigira ab'omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo?
46Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw'alisanga ng'azze ngakola bw'atyo.
47Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.
48Naye omuddu oyo omubi bw'aligamba mu mutima gwe nti Mukama wange aludde;
49era bw'alisooka okukuba baddu banne, n'okulya n'okunywera awamu n'abatamiivu;
50mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atalindiririramu, ne mu kiseera ky'atamanyi,
51alimutemamu ebitundu bibiri, alimuwa omugabo gwe wamu ne bannanfuusi: mwe muliba okukaaba n'okuluma obujiji.