Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
17 verses
1Mu nnaku ezo, Yokaana Omubatiza n'ajja ng'abuulirira mu ddungu ery'e Buyudaaya,
2ng'agamba nti Mwenenye; kubanga obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.
3Kubanga oyo nnabbi Isaaya gwe yayogerako, ng'agamba nti Eddoboozi ly'oyo ayogerera waggulu mu ddungu nti Mulongoose oluguudo lwa Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge.
4Naye Yokaana oyo yayambalanga engoye ez'ebyoya by'eŋŋamira, nga yeesiba olukoba olw'eddiba mu kiwato; n'emmere ye yali nzige na mubisi gw'enjuki ez'omu nsiko.
5Awo ne bava e Yerusaalemi ne mu Buyudaaya wonna, n'ensi yonna eriraanye Yoludaani, ne bajja gy'ali;
6n'ababatiza mu mugga Yoludaani, nga baatula ebibi byabwe.
7Naye bwe yalaba Abafalisaayo abangi n'Abasaddukaayo abangi nga bajjirira okubatiza kwe n'abagamba nti Mmwe abaana b'emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
8Mubale ebibala ebisaanidde okwenenya;
9temulowooza kwogera mu mitima nti Tulina Ibulayimu ye jjajjaffe: kubanga mbagamba nti Katonda ayinza mu mayinja gano okugafuuliramu Ibulayimu abaana.
10Naye kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky'emiti: buli muti ogutabala bibala birungi gunaatemebwa, gunaasuulibwa mu muliro.
11Nze mbabatiza na mazzi olw'okwenenya: naye oyo ajja ennyuma wange ye ansinga amaanyi, sisaanira na kukwata ngatto ze: oyo alibabatiza n'Omwoyo Omutukuvu n'omuliro.
12Olugali lwe luli mu mukono gwe, naye alirongoosa nnyo egguuliro lye; alikuŋŋaanyiza eŋŋaano mu ggwanika, naye ebisusunku alibyokya n'omuliro ogutazikira.
13Awo Yesu n'ava e Ggaliraaya, n'atuuka ku Yoludaani eri Yokaana, amubatize.
14Naye Yokaana yali ayagala okumugaana, ng'agamba nti Nze nneetaaga ggwe okumbatiza, naawe ojja gye ndi?
15Naye Yesu n'addamu n'amugamba nti Kkiriza kaakano: kubanga kitugwanira bwe tutyo okutuukiriza obutuukirivu bwonna. N'alyoka amukkiriza.
16Awo Yesu, bwe yamala okubatizibwa, amangu ago n'ava mu mazzi: laba, eggulu ne limubikkukira, n'alaba Omwoyo gwa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye;
17laba, eddoboozi ne liyima mu ggulu, nga ligamba nti Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo.