Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
48 verses
1Bwe yalaba ebibiina, n'alinnya ku lusozi: n'atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja gy'ali.
2n'ayasamya akamwa ke, n'abayigiriza ng'agamba nti
3Balina omukisa abaavu mu mwoyo: kubanga abo obwakabaka abw'omu ggulu bwe bwabwe.
4Balina omukisa abali mu nnaku: kubanga abo balisanyusibwa.
5Balina omukisa abateefu: kubanga abo balisikira ensi.
6Balina omukisa abalumwa enjala n'ennyonta olw'obutuukirivu: kubanga abo balikkusibwa.
7Balina omukisa ab'ekisa: kubanga abo balikwatirwa ekisa.
8Balina omukisa abalina omutima omulongoofu: kubanga abo baliraba Katonda.
9Balina omukisa abatabaganya: kubanga abo baliyitibwa baana ba Katonda.
10Balina omukisa abayigganyizibwa olw'obutuukirivu: kubanga abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
11Mmwe mulina omukisa bwe banaabavumanga, bwe banaabayigganyanga, bwe banaabawaayiranga buli kigambo kibi, okubavunaanya nze.
12Musanyuke, mujaguze nnyo: kubanga empeera yammwe nnyingi mu ggulu: kubanga bwe batyo bwe baayigganya bannabbi abaasooka mmwe.
13Mmwe muli munnyo gwa nsi; naye omunnyo bwe guggwaamu ensa, balirungamu munnyo nnabaki? Tegukyasaana nate, wabula okusuulibwa ebweru, abantu okugulinnyirira.
14Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kikubibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa.
15So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju.
16Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g'abantu balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.
17Temulowoozanga nti najja okudibya amateeka oba ebya bannabbi: sajja kudibya, wabula okutuukiriza.
18Kubanga mbagamba mazima nti Eggulu n’ensi okutuusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newakudde akatonnyeze akamu ak’omu Mateeka tekaliggwaawo, Okutuusa byonna lwe birimala okutuukirira.
19Kale buli anaadibyanga erimu ku mateeka ago wadde erisinga obutono era anaayigirizanga abantu bw'atyo, aliyitibwa mutono mu bwakabaka obw'omu ggulu: naye buli anaagakwatanga era anaagayigirizanga, oyo aliyitibwa mukulu mu bwakabaka obw'omu ggulu.
20Kubanga mbagamba nti obutuukirivu bwammwe bwe butaasingenga butuukiruvu bwa bawandiisi n'Abafalisaayo, temuliyingira n'akatono mu bwakabaka obw'omu ggulu.
21Mwawulira ab'edda bwe baagambibwa nti Tottanga naye omuntu bw'anattanga, anazzanga omusango:
22naye nange mbagamba nti buli muntu asunguwalira muganda we, alizza omusango; naye anaagambanga muganda we nti Laka, asaanidde okutwalibwamu lukiiko, naye anaagambanga nti Musirusiru, asaanidde okusuulibwa mu Ggeyeena ey'omuliro.
23Kale, bw'obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw'oyima eyo n'omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo,
24leka awo ssaddaaka yo mu maaso g'ekyoto, oddeyo, osooke omale okutagabana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.
25Yagalananga mangu n'oyo akuwawaabira ng'okyali naye mu kkubo; akuwawaabira alemenga okukutwala eri katikkiro, so ne katikkiro alemenga okukuwa omumbowa, era olemenga okuteekebwa mu kkomera.
26Mazima nkugamba nti Tolivaamu, okutuusa lw'olimala okukomekkereza n'eppeesa erimu.
27Mwawulira bwe baagambibwa nti Toyendanga:
28naye nange mbagamba nti buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng'amaze okumwendako mu mutima gwe.
29Oba ng'eriiso lyo erya ddyo likwesittaza liggyeemu, lisuule wala: kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okusuulibwa mu Ggeyeena.
30Era oba ng’omukono gwo ogwa ddyo gukwesittaza, gutemeko, gusuule wala kubanga kye kisinga obulungi ekitundu kyo ekimu kizikirire, omubiri gwo gwonna guleme okugenda mu Ggeyeena.
31Baagambibwa nate nti Omuntu bw'agobanga mukazi we, amuwanga ebbaluwa ey'okumugoba:
32naye nange mbagamba nti buli muntu agobanga mukazi we, wabula ogw'obwenzi ng'amwenzezza: n'oyo awasanga gwe baagoba, ng'ayenze.
33Mwawulira ate ab'edda bwe baagambibwa nti Tolayiranga bya bulimba, naye otuukiririzanga Mukama by'olayira:
34naye nange mbagamba nti Tolayiranga n'akatono, newakubadde eggulu, kubanga ye ntebe ya Katonda;
35newakubadde ensi, kubanga ye gy'ateekako ebigere bye; newakubadde Yerusaalemi, kubanga kye kibuga kya Kabaka omukulu.
36So tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza kufuula luviiri lumu oba lweru oba luddugavu.
37Naye ebigambo byammwe bibeerenga nti Weewaawo, weewaawo; si weewaawo, si weewaawo: naye ebisinga ebyo biva mu mubi.
38Mwawulira bwe baagambibwa nti Eriiso ligattwenga eriiso, n’erinnyo ligattwenga erinnyo:
39naye nange mbagamba nti Temuziyizanga mubi: naye omuntu bw'akukubanga oluba olwa ddyo, omukyukizanga n'olwa kkono.
40Omuntu bw'ayagalanga okuwoza naawe okutwala ekkanzu yo, omulekeranga n'ekizibawo kyo.
41Omuntu bw’akuwalirizanga okutambula naye mairo emu, tambulanga naye n'ey'okubiri.
42Akusabanga omuwanga; omuntu bw’ayagalanga okumuwola, tomukubanga mabega.
43Mwawulira bwe baagambibwa nti Oyagalanga munno, okyawanga omulabe wo:
44naye nange mbagamba nti Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya;
45mulyoke mubeerenga abaana ba Kitammwe ali mu ggulu: kubanga enjuba ye agyakiza ababi n'abalungi, abatonnyeseza enkuba abatuukirivu n'abatali batuukirivu.
46Kubanga bwe munaayagalanga ababaagala, mulina mpeera ki? n'abawooza tebakola bwe batyo?
47Bwe munaalamusanga baganda bammwe bokka, munaabasinzangawo ki? N’ab'amawanga tebakola bwe batyo?
48Kale mmwe mubeerenga abatuukirivu, nga Kitammwe ali mu ggulu bw'ali omutuukirivu.