Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
16 verses
1Ekigambo kya Mukama ekyaja eri Mikka, Omumolasuuti, mu mirembe gya Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, kye yalaba ku Samaliya ne ku Yerusaalemi.
2Muwulire, mmwe ab'amawanga mwenna; tega amatu go, ggwe ensi, n'ebyo byonna ebirimu; Mukama Katonda abe mujulirwa eri mmwe, Mukama ng'ayima mu yeekaalu ye entukuvu.
3Kubanga, laba, Mukama ava mu kifo kye, alikka alitambulira ku bifo ebigulumivu eby'ensi.
4N'ensozi zirisaanuuka wansi we n'enkonko ziryatika ng'ebisenge by'enjuki mu maaso g'omuliro, ng'amazzi agayiikira awali ebbanga.
5Olw'okwonoona kwa Yakobo ebyo byonna biribaawo n'olw'ebibi eby'ennyumba ya Isiraeri. Okwonoona okwa Yakobo kiki? si Samaliya? ebifo ebigulumivu ebya Yuda kiki? si Yerusaalemi?
6Kale ndifuula Samaliya ng'ekifunvu mu ttale; ng'ebizabbibu ebisimbe; nange ndisuula amayinja gaakyo mu lukonko, era ndyerula emisingi gyakyo.
7Ebifaananyi byakyo byonna birisekulwasekulwa n'empeera zaakyo zonna ziryokebwa omuliro, nange ndizikiriza ebifaananyi byakyo byonna; kubanga yazikuŋŋaanya nga ziva mu mpeera ey'omukazi omwenzi, era ziridda eri empeera ey'omwenzi.
8Kyendiva mpowoggana, ndikuba ebiwoobe, nditambula nga nnyambudde engoye zange era nga ndi bwereere; ndikaaba ng'ebibe, ndijoonajoona nga bamaaya.
9Kubanga ebiwundu bye tebiwonyezeka; kubanga kituuse ne ku Yuda; kituuse ku luggi olwa wankaaki olw'abantu bange, era ku Yerusaalemi.
10Temukibuulira mu Gaasi, temukaaba amaziga n'akatono: ku Besuleyafula nneekulukuunyizza mu nfuufu.
11Muyite muveeyo, ggwe abeera mu Safiri, ng'oli bwereere, era ng'okwatibwa ensonyi; oyo abeera mu Zanani tavuddeemu; ebiwoobe bya Beswezeeri birikuggyako ekikondo kyakyo.
12Kubanga oyo abeera mu Malosi yeeraliikirira ng'alindirira ebirungi; kubanga akabi kasse, kavudde eri Mukama ku luggi olwa wankaaki olwa Yerusaalemi.
13Siba eggaali ku mbalaasi esinga embiro, ggwe abeera mu Lakisi: oyo ebibi kwe byasookera eri omuwala wa Sayuuni; kubanga ebyonoono bya Isiraeri byalabika mu ggwe.
14Kyoliva owa ekirabo Molesesu-gaasi, eky'okusiibula; ennyumba za Akuzibu ziriba eky'obulimba eri bassekabaka ba Isiraeri.
15Nkyagenda okuleeta gy'oli, ggwe abeera mu Malesa, oyo aliba nnannyini ggwe; ekitiibwa kya Isiraeri kirituuka era ku Adulamu.
16Weemwe osalire enviiri abaana abakusanyusa; gaziya ekiwalaata kyo ng'empungu; kubanga bakuggiddwako bagenze mu kusibibwa.