Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
15 verses
1Omugugu gwa Nineeve. Ekitabo eky'okwolesebwa kwa Nakkumu, Omwerukoosi.
2Mukama ye Katonda w'obuggya, era awalana eggwanga; Mukama awalana eggwanga, era ow'obusungu obungi; Mukama awalana eggwanga abamukyawa, era aterekera abalabe be obusungu.
3Mukama tatera kusunguwala, alina amaanyi mangi, so talitaatira n'akatono. Ekkubo lya Mukama liyita mu kikuŋŋunta ne mu kibuyaga, era ebire ze nfuufu z'ebigere bye.
4Akangavvula ennyanja n'agikaza; era akaza emigga gyonna; Basani ebabuse ne Kalumeeri, era ekimuli eky'oku Lebanooni kibabuse.
5Ensozi zikankana gy'ali, obusozi ne busaanuuka; era ettaka ne limmuka mu maaso ge; weewaawo, ensi zonna ne bonna abazibeeramu.
6Mu maaso g'obusungu bwe ani ayinza okuyimirira? ani ayinza okubeerawo obusungu bwe nga bunyiikidde? obukambwe bwe bufukibwa ng'omuliro, n'enjazi zimenyebwamenyebwa ye.
7Mukama mulungi, kigo ku lunaku olw'okulabiramu ennaku; era amanyi abo abamwesiga.
8Naye ne mukoka akulukuta alimalirawo ddala ekifo kyakyo, era abalabe be alibagobera mu kizikiza.
9Kye muteesa ku Mukama kiki? alimalirawo ddala; obunaku tebuliyimuka omulundi ogw'okubiri.
10Kubanga newakubadde nga bali ng'amaggwa agakwataganye, era nga batobye kwenkana mu kunywa kwabwe, balyokerwa ddala ng'ensambu enkalu.
11Mu ggwe muvudde omu alowooza akabi ku Mukama, ateesa ebibi.
12Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Newakubadde nga balina amaanyi amakakafu era bangi, era balizikirira, naye alivaawo. Newakubadde nga nakulabisa ennaku, sikyakulabisanga nnaku.
13Era kaakano naamenya ekikoligo kye kive ku ggwe, era naakutulakutula ebikusiba.
14Ne Mukama alagidde ku ggwe baleme okweyongera okusiga ku linnya lyo; ndizikiriza ekifaananyi ekyole n'ekifaananyi ekisaanuuse bive mu nnyumba ya bakatonda bo; ndisima entaana yo; kubanga oli mugwagwa.
15Laba, ku nsozi ebigere by'oyo abuulirira ebigambo ebirungi, alangira emirembe! Weekuuma embaga zo, ggwe Yuda, tuukiriza obweyamo bwo; kubanga omubi takyayitanga wakati wo; azikirira ddala.