Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
33 verses
1Awo Mukama n'agamba Musa nti
2Tuma abantu bakette ensi ya Kanani, gye mpa abaana ba Isiraeri: munaggya omuntu ku buli kika kya bakitaabwe ne mumutuma, buli muntu omukulu mu bo.
3Awo Musa n'abatuma ng'ayima mu ddungu lya Palani ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali: bonna abasajja abaali emitwe gy'abaana ba Isiraeri.
4N'amannya gaabwe ge gano: ku kika kya Lewubeeni, Semuwa mutabani wa Zakula.
5Ku kika kya Simyoni, Safati mutabani wa Koli.
6Ku kika kya Yuda, Kalebu mutabani wa Yefune.
7Ku kika kya Isakaali, Igali mutabani wa Yusufu.
8Ku kika kya Efulayimu, Koseya mutabani wa Nuuni.
9Ku kika kya Benyamini, Paluti mutabani wa Lafu.
10Ku kika kya Zebbulooni, Gadyeri mutabani wa Sodi.
11Ku kika kya Yusufu, kye kika kya Manase, Gaadi mutabani wa Susi.
12Ku kika kya Ddaani, Ammiyeri mutabani wa Gemali.
13Ku kika kya Aseri, Sesula mutabani wa Mikaeri.
14Ku kika kya Nafutaali, Nakabi mutabani wa Vofesi.
15Ku kika kya Gaadi, Geweri mutabani wa Maki.
16Ago ge mannya g'abantu Musa be yatuma okuketta ensi. Musa n'atuuma Koseya mutabani wa Nuuni Yoswa.
17Musa n'abatuma okuketta ensi ya Kanani, n'abagamba nti Mwambukire mu kkubo lino ery'obukiika obwa ddyo, mulinnye ku nsozi
18mulengere ensi bw'eri; n'abantu abagituulamu oba nga ba maanyi oba nga banafu, oba nga batono oba nga bangi;
19era ensi bw'eri gye batuulamu, oba nga nnungi oba nga mbi; n'ebibuga bwe biri bye batuulamu, oba nga nsiisira, oba nga mu bigo;
20era ensi bw'eri, oba nga ngimu oba nga nkalu, oba nga mulimu emiti oba nga temuli. Era mugume omwoyo, muleete ku bibala byamu. Era ebiro byali biro bya zabbibu ezisooka okwengera.
21Awo ne bambuka, ne baketta ensi okuva ku ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu, okutuusa w'oyingirira e Kamasi
22Ne bambukira obukiika obwa ddyo, ne batuuka e Kebbulooni; era Akimaani, Sesayi, ne Talumaayi, abaana ba Anaki, baali bali eyo. (Era Kebbulooni kyali kyakamaze emyaka musaavu okuzimbibwa, ne balyoka bazimba Zowani ekiri mu Misiri
23Ne batuuka mu kiwonvu e Esukoli, ne batemayo ettabi eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, ne bakisitulira ku musituliro abantu babiri; era baaleeta ne ku makomamawanga, ne ku ttiini.
24Ekifo ekyo ne kiyitibwa ekiwonvu Esukoli, olw'ekirimba abaana ba Isiraeri kye baatemayo.
25Awo ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi ennaku ana nga ziyiseewo.
26Ne batuuka ne bajja eri Musa n'eri Alooni n'eri ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, mu ddungu lya Palani, e Kadesi; ne babaddiza ebigambo bo n'ekibiina kyonna, ne babalaga ebibala by'ensi.
27Ne bamubuulira ne bagamba nti Twatuuka mu nsi gye watutuma, era mazima ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki; era bino bye bibala byayo.
28Naye abantu abatuula mu nsi ba maanyi, n'ebibuga biriko enkomera, binene nnyo: era nate twalabayo abaana ba Anaki.
29Amaleki atuula mu nsi ey'obukiika obwa ddyo: n'Omukiiti, n'Omuyebusi, n'Omwamoli, batuula ku nsozi: n'Omukanani atuula kumpi n'ennyanja, era ku lubalama lwa Yoludaani.
30Kalebu n'asirisa abantu mu maaso ga Musa, n'agamba nti Twambuke mangu ago, tugirye; kubanga tuyinziza ddala okugiwangula.
31Naye abantu abaayambukira awamu naye ne bagamba nti Tetuyinza kwambuka ku bantu abo; kubanga batukiza amaanyi.
32Ne baleeta ebigambo ebibi eby'ensi gye baali bakesse eri abaana ba Isiraeri nga boogera nti Ensi gye twayitamu okugiketta, nsi eriira ddala abagituulamu; n'abantu bonna be twalaba omwo basajja bawanvu nnyo.
33Era twalabayo Banefiri, abaana ba Anaki, abaava ku Banefiri: naffe ne tuba mu maaso gaffe ng'obwacaaka, era bwe twali mu maaso gaabwe.