Loading Bible Translation
First-time download in progress. This may take a few seconds…
Luganda Holy Bible Wordproject Bible
41 verses
1Mukama n'agamba Musa nti
2Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulimala okutuuka mu nsi gye munaatuulangamu, gye mbawa,
3era nga mwagadde okuwaayo ekiweebwayo n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba okuba kye muwaayo ku bwammwe, oba ku mbaga zammwe ezaalagirwa, okunyookereza Mukama evvumbe eddungi, ku nte oba ku ndiga:
4kale oyo anaawangayo ekitone kye anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo eky'obutta eky'ekitundu eky'ekkumi ekya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya ini ey'amafuta:
5n'envinnyo okuba ekiweebwayo ekyokunywa, ekitundu eky'okuna ekya ini, onootegekanga wamu n'ekiweebwayo ekyokebwa oba olwa ssaddaaka, olwa buli mwana gw'endiga.
6Oba olw'endiga ennume onootegekanga okuba ekiweebwayo eky'obutta ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'amafuta:
7era okuba ekiweebwayo ekyokunywa onoowangayo ekitundu eky'okusatu ekya ini ey'envinnyo, ey'akawoowo eri Mukama.
8Era bw'onootegekanga ente okuba ekiweebwayo ekyokebwa oba okuba ssaddaaka, okutuukiriza obweyamo, oba okuba ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama:
9kale anaawangayo wamu n'ente ekiweebwayo eky'obutta eky'ebitundu bisatu eby'ekkumi ebya efa ey'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu kya ini ey'amafuta.
10Era onoowangayo okuba ekiweebwayo ekyokunywa kitundu kya ini ey'envinnyo, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'akawoowo eri Mukama.
11Bwe kityo bwe kinaakolebwanga olwa buli nte, oba olwa buli ndiga ennume, oba olwa buli mwana gw'endiga omulume, oba abaana b'embuzi.
12Ng'omuwendo gwe munaateekanga bwe gunaabanga, bwe munaakolanga bwe mutyo kinneemu ng'omuwendo gwazo bwe gunaabanga.
13Enzaalwa bonna banaakolanga ebyo bwe batyo, bwe banaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama:
14Era omugenyi bw'anaatuulanga nammwe, oba buli anaabanga mu mmwe mu mirembe gyammwe gyonna, era ng'ayagadde okuwaayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; nga mmwe bwe mukola, naye bw'anaakolanga bw'atyo.
15Mu kibiina, wanaabangawo etteeka limu gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga mu mmwe, etteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna: nga mmwe bwe muli, n'omugenyi bw'anaabanga bw'atyo mu maaso ga Mukama.
16Etteeka limu n'obulombolombo bumu binaabanga gye muli n'eri omugenyi anaatuulanga nammwe.
17Mukama n'agamba Musa nti
18Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulituuka mu nsi gye mbatwala, awo olunaatuukanga,
19bwe munaalyanga ku mugaati ogw'ensi, munaawangayo ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama.
20Ku mugoyo gwammwe ogw'olubereberye kwe munaggyanga omugaati ne muguwaayo okuba ekiweebwayo ekisitulibwa: nga bwe mukola ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omu guuliro, bwe munaakisitulanga bwe mutyo.
21Ku mugoyo gwammwe ogw'olubereberye kwe munaggyanga okuwa Mukama ekiweebwayo ekisitulibwa mu mirembe gyammwe gyonna.
22Era bwe munaasobyanga ne mutakwata biragiro bino byonna, Mukama bye yabuulira Musa,
23byonna Mukama bye yabalagira n'omukono gwa Musa, okuva ku lunaku Mukama lwe yalagirirako, n'oluvannyuma lwonna mu mirembe gyammwe gyonna;
24awo olunaatuukanga, bwe munaabanga mukikoze nga temumanyiridde, ekibiina nga tekimanyi, ekibiina kyonna banaawangayo ente emu envubuka okuba ekiweebwayo ekyokebwa, olw'evvumbe eddungi eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyako eky'obutta n'ekiweebwayo kyako eky'okunywa, ng'etteeka bwe liri, n'embuzi emu ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
25Era kabona anaatangiriranga ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, era banaasonyiyibwanga; kubanga kubadde kusobya, era nga baleese ekitone kyabwe, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, n'ekyabwe ekiweebwayo olw'ekibi mu maaso ga Mukama, olw'okusobya kwabwe:
26n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri banaasonyiyibwanga, n'omugenyi atuula mu bo; kubanga kyakolebwa nga tebamanyiridde eri abantu bonna.
27Era omuntu bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, kale anaawangayo embuzi enduusi etennamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
28Era kabona anaatangiriranga obulamu obusobya, bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu maaso ga Mukama, okumutangirira; kale anaasonyiyibwanga.
29Munaabanga n'etteeka limu eri oyo anaakolanga ekikolwa kyonna nga tamanyiridde, eri enzaalwa mu baana ba Isiraeri, n'eri omugenyi atuula mu bo.
30Naye obulamu obunaakolanga ekikolwa kyonna n'ekyejo, oba nga nzaalwa oba nga mugenyi, oyo ng'avvodde Mukama; n'obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be.
31Kubanga anyoomye ekigambo kya Mukama era ng'amenye ekiragiro kye; obulamu obwo bunaazikiririzibwanga ddala, obutali butuukirivu bwe bunaabanga ku ye.
32Awo abaana ba Isiraeri bwe baali nga bakyali mu ddungu, ne basanga omuntu ng'alondera enku ku lunaku lwa ssabbiiti.
33N'abo abaamusanga ng'alonda enku ne bamuleetera Musa ne Alooni n'ekibiina kyonna.
34Ne bamusiba, kubanga kyali tekinnategeezebwa bw'anaakolebwa.
35Mukama n'agamba Musa nti Omuntu oyo taaleme kuttibwa: ekibiina kyonna kinaamukubira amayinja ebweru w'olusiisira.
36Ekibiina kyonna ne bamutwala ebweru w'olusiisira, ne bamukuba amayinja, n'afa; nga Mukama bwe yalagira Musa.
37Mukama n'agamba Musa nti
38Yogera n'abaana ba Isiraeri obalagire okwekolera amatanvuwa ku nkugiro z'ebyambalo byabwe mu mirembe gyabwe gyonna, era bateeke omugwa ogwa kaniki ku matanvuwa agali ku buli lukugiro:
39era ganaabanga gye muli amatanvuuwa, mugalabenga mujjukire ebiragiro byonna ebya Mukama, mubikolenga; muleme okutambulatambula okugoberera omutima gwammwe mmwe n'amaaso gammwe mmwe, bye muyisa okugoberera okwenda nabyo:
40mujjukire ebiragiro byange byonna mubikole, mube batukuvu eri Katonda wammwe.
41Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe.